ENTEEKATEEKA engazi obulungi ey’okugemanga abantu yatandikibwawo ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’obulamu mu nsi yonna ekya ‘World Health Organization’ (WHO) mu 1974.
Era we twogerera, mu mwaka guno ogwa 2024 enteekateeka ey’okugema ekoonodde emyaka 50 nga weeri.
Mu myaka 50 egiyise, enteekateeka eno ekoze omulimu gwa ttendo mu kuziyiza abantu okufa endwadde ezeewalika ng’omutu akozesezza eddagala erigema.
Okugema kuyambye abantu okubeera abalamu mu Uganda n’ensi yonna okutwaliza awamu.
Uganda nsaale nnyo ku mawanga ageetabye mu nteekateeka ey’okugema, era nga kiyambye okukuuma abaana obutakosebwa nnyo ndwadde nga polio, mulangira (olukusense), diphtheria n’endala.
Olugendo luno olutambuddwaako mu kugema, lutuwa omukisa okulowooza ku bituukiddwaako, engeri y’okuvvuunukamu okusoomoozebwa wamu n’okutema
empenda ez’okutwala mu maaso enteekateeka ya Uganda ey’ebyokugema abantu.
Pulezidenti Museveni ng’agema omwana e Kiruhura.
ABAVUNAANYIZIBWA KU KUGEMA MU GGWANGA BONGEDDE OKUSEMBEZA OBUWEEREZA NE KITUMBULA OMUWENDO GW’ABANTU ABAFUNA EDDAGALA ERIGEMA
Abantu abamu okugema tebakutwala ng’ensonga okutuusa ng’abaana bafudde oba nga balemadde olw’endwadde omuntu z’asobola okuziyiza ng’ayita mu kugema nga polio n’endala.
Okugema kulimu okukozesa eddagala ery’enjawulo erikuuma omwana endwadde.
Eddagala erigema liwa obukuumi nga liyita mu kwongera embavu mu baserikale
b’omubirigwe abalwanyisa endwadde.
Edda twayogeranga ku ndwadde nnamutta mukaaga (6) ezirina okugemebwa, naye olw’enkyukakyuka mu bitwetoolodde n’engeri gye tweyisaamu mu bulamu bwaffe, kati
zeeyongeddeko. Zifuuse endwadde 14.
Era omuzadde alina omwana ky’alina okukola kiri kimu kyokka kya kumanya nnaku ed- dwaaliro erigema kwe liweera obuweereza bw’okugema n’atwalayo omwana we n’ekipande kye kwe bamugemera.
Dr. Michael Baganizi Owa UNEPI
OMWANA OW’EMYAKA 2 ALINA OKUBA NG’AGEMEDDWA EMIRUNDI 6
Omwana okuweza emyaka 2 alina okubeera ng’agemeddwa emirundi 6. Mu lutalo olw’okulwanyisa endwadde ezisiigibwa okuva ku muntu omu okudda ku mulala, abavu-
naanyizibwa ku by’enteekateeka z’okugema mu ggwanga aba Uganda National Expanded Program on Immunization (UNEPI), bayimiriddewo nnyo okuleeta
essuubi nga bayita mu kuziyiza endwadde mu bantu okwetooloola eggwanga.
Maneja avunaanyizibwa ku by’enteekateeka y’eby’okugema mu ggwanga, Dr. Michael Baganizi agamba ekiruubirirwa kyabwe kya kulaba nga bassa ettoffaali mu kutuukiriza ekiruubirirwa ky’abeebyobulamu eky’okukendeeza ku kubonaabona, okufa wamu n’okulemala olw’endwadde abantu ze basobola okuziyiza,” bw’ati Dr. Baganizi bwe
yategeezezza.
Emu ku mpagi z’obuwanguzi obutuukiddwaako abavunaanyizibwa ku by’okugema, eri mu kukola n’okussaawo ebintu ebitali bimu ebiyambako mu kuziyiza endwadde n’okukosa kwonna kwe zandituusizza eri abantu nga zibaluseewo.
Era okuva mu bibuga okutuuka mu byalo, abavunaanyizibwa ku by’okugema bakakasanti eddagala erigema lituuka ne ku bantu abasinga okuyisibwamu amaaso ng’abakyala, abakuliridde mu myaka, nga n’abaana nabo tebasuuliddwa muguluka mu lutalo luno olw’okulwanyisa endwadde.
Okusinziira ku Dr. Baganizi, okugema y’emu ku ngeri esinga ey’okulwanyisa endwadde mu bantu. Okugema abaana n’abantu mu bitundu, tekikuuma bukuumi bantu ssekinnoomu eri endwadde, wabula kizimba n’ekitundu kyonna okutwaliza awamu nga tekikyasobola kumala galumbibwa ndwadde.
Uganda eri mu kulwanagana n’endwadde eziri mu kugirum bagana nga mw’otwalidde ne Corona. Wabula abavunaanyizibwa ku by’okugema mu ggwanga basigadde banyweredde ku mulamwa gwabwe ogw’okuziyiza endwadde.
Emirimu gyabwe bagikola nga bayita mu kukolagana n’ebitongole bya gavumenti ebitali bimu, ebitongole ebirina obusobozi okukolera mu nsi yonna ng’ekitongole
ekivunaanyizibwa ku by’eddagala erigema ekya Global Alliance for Vaccines and Immunisation, ekitongole ky’ebyobulamu munsi yonna ekya World Health Organisation (WHO) n’abantu be kikwatako abatali bamu.
Omwana eyayiwa mulangira (olukusense) ku mubiri gwe ng’agenda akala. Bw’ogemesa omwana obulwadde ne bwe bumukwata tebumuyisa bubi ng’oyo atagemebwangako.
Okugema kukolebwa ab’ebyobulamu abatendeke
OKUGEMA kukolebwa ab’ebyobulamu abatendeke nga basinziira ku malwaliro ne mu nsiisira z’ebyobulamu ezikolebwa mu bitundu.
Abavunaanyizibwa ku by’okugema batera okutegekawo okugema okw’enjawulo okwongerezebwa ku kwa bulijjo okukolebwa okugeza okugema abaana, abakyala abazito n’abantu abalala okutera okukolebwa mu buli April ne October buli mwaka, era nga okugema kuno kukolebwa n’ekiruubirirwa eky’okuziyiza n’okwongera emibiri gy’abantu embavu okwerwanyisiriza endwadde ezitali zimu ezibalumbagana mu bitundu byabwe.
WALIWO EDDAGALA ERIGEMA EPPYA MINISITULE Y’EBYOBULAMU LY’EYONGEDDE KU LIBADDEWO
Waliwo eddagala erigema eppya eryeyongeddeko. Wabula erimu ku ddagala erigema eryeyongeddeko erisinga libaddewo ne muliri erizze likozesebwa mu
nteekateeka z’okugema.
Lucy Lanyero ow’e Amuru ng’ayamba omwana we Bosco Opoka eyagongobala amagulu olwa polio.
Minisitule y’ebyobulamu ky’ekoze kya kuzza buggya enteekateeka kwe bagemera
n’eyongerako ku ddoozi z’erimu ku ddagala erigema eribaddewo.
Ku ddoozi ezeeyongeddeko kuliko ddoozi y’eddagala erigema obulwadde bw’ekibumba
obwa Hepatitis B eriweebwa omwana nga yaakazaalibwa, eddagala ly’empiso erigema pooliyo ng’omwana awezezza omwezi gumu n’ekitundu wamu n’eddoozi eyookubiri
ey’eddagala erigema mulangira (olukusense) ng’omwana awezezza omwaka gumu n’ekitundu.
Eddagala lyokka eppya eryongeddwa mu nteekateeka y’okugema ly’eddagala erigema omusujja gw’enkaka (Yellow fever) erigenda okuweebwanga abaana nga bawezezza emyezi 9.
Eddagala erigema omusujja gw’ensiri ly’eddagala eppya eddala erisongebwako, lwa kuba lyo wano mu Uganda ligenda kutongozebwa mu April w’omwaka 2025.
ABANTU ABALINA OKUGEMEBWA
1. Abaana bonna abali wansi w’emyaka 2 balina okutwalibwa okugemebwa emirundi mukaaga nga tebannaweza myaka 2.
2. Abaana abawala bonna abawezezza emyaka 10 balina okugemebwa kkansa w’omumwa gwa nnabaana nga bayita mu kufuna ddoozi 2 ez’eddagala lya HPV. Wabula
bw’afuna ddoozi esooka, okufuna eyookubiri walina okusooka okuyitawo emyezi 6.
3. Abakyala bonna abatuusizza emyaka egizaala okuva ku myaka 15 - 49, balina okugemebwa obulwadde bwa Diphtheria n’akawuka ka tetenansi. Newankubadde wateereddwaawo kaweefube ow’okugema abaana bonna, wakyaliwo abaana
abatafunangako wadde ne ddoozi emu bw’eti ey’endwadde ezitali zimu ezigemebwa.
Abaana abatagemebwangako bwe beeyongera mu kitundu, babeera mu matigga g’okukwatibwa endwadde ze tumanyi obulungi nti zeewalika ng’omutu abadde agemeddwa.
Ate era, abaana bano abatagemebwangako, baviirako n’okubalukawo kw’endwadde mu bitundu. Noolwekyo abazadde tufeeyo okugemesa abaana.