Owa poliisi asindikidwa mu kkomera lwa kubba ddagala lya gavumenti

Aug 24, 2024

AIP Kule Yusufu Katuramu ow’emyaka 59, abadde akolera ku poliisi y’e Kyenjojo yakwatibwa omwaka oguwedde mu mwezi gwa Mutunda mu kikwekweto ky’ekitongole ky’ebyeddagala

By Fatumah Nagudi
Journalist @New Vision

Omulamuzi Aciba Gloria Nimungu owa kkooti y’e Kyenjojo asindise ofiisa wa poliisi mu kkomera yeebakeyo emyaka ena oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okubba n’okutunda eddagala lya gavumenti.

AIP Kule Yusufu Katuramu ow’emyaka 59, abadde akolera ku poliisi y’e Kyenjojo yakwatibwa omwaka oguwedde mu mwezi gwa Mutunda mu kikwekweto ky’ekitongole ky’ebyeddagala ekya National Drug Authority (NDA) nga kirwanyisa obubbi bw’eddagala lya gavumenti mu ggwanga.

 

Oludda oluwaabi lugamba nti AIP Kule yakwatibwa ne banne mukaaga okwali Tom Bwambale, Denis Blessing n’abalala nga batunza eddagala abayeekera ba ADF e Congo.

Kakuru Joel Akatukunda, omuwaabi wa gavumenti ku kkooti y’e Kyenjojo yalaze ensonga lwaki Kule asaanidde okuweebwa ekibonerezo ekimala abalala okulabirako naddala abo abeetaba mu mize nga gino.

Yagambye nti eddagala lye baakwatibwa nalyo nga bafiiriza abantu abawera 6,000 okufuna obujjanjabi ssaako n’okulwisaawo omusango olwokuba beyakwatibwa nabo bakkiriza nebavunanibwa.

Looya wa Kule, Dushabe Samuel owa Kesiime and co. advocates yasabye omuntu we aweebwe ekibonerezo ekisaamusaamu olw’embeera y’obulwadde bw’alina n’obuvunaanyizibwa bw’abaana b’alabirira.

Bano baasangibwa n’eddagala omwali emikebe gya ARVs 10, Anti-malarial 80, test strips eza HIV 100 n’eza Hepatitis B, obudomola 12 obukozesebwa mu Labalatole n’ebirala nga kigambibwa okuba nti baali babikukusa kubitwala e Congo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});