Poliisi e Iganga akutte abantu basatu abagambibwa okukuma omuliro wakati mu luguudo, ne kisannyalaza entambula.
Bibadde Buseyi e Nakalama ku luguudo oluva e Iganga okudda e Bugiri, abantu abagambibwa nti babadde batambulira mu kawundo nnamba UBM 299M bwe bakumye omuliro mu luguudo.
Poliisi ekutte Abudallah Ssebukaire, Lookman Sebukaire ne Micheal Zimba abagambibwa okukulemberamu ebikolwa bino, ebyokwekalakaasa.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kafayo, agambye nti, babaguddeko emisango gy'okukuba olukung’aana nga tebalina lukusa n'okutiisatiisa.