OMWETISSI w’emigugu eyabulawo n’ensawo ya munnamagye ng’erimu ebyambalo bya UPDF avunaaniddwa mu kkooti ya Nateete - Lubaga e Mengo ne gumusinga n’asindikibwa mu kkomera nga bw’alinda ekibonerezo.
Alex Ssennyonjo amanyiddwa nga Mukisa 24, ow’e Nakasero yavunaaniddwa mu maaso g’Omulamuzi Adams Byarugaba.
Oludda oluwaabi lwategeezezza nti nga April 5, 2023 ku ssaawa bbiri n’ekitundu ez’ekiro ku luguudo Nabunnya mu Lubaga, Ssennyonjo yasangibwa n’ekisawo kino.
Omugango yagukkirizza ne bamusiba nga bw’alinda ekibonerezo ekinaamuweebwa Omulamuzi.