Ebigezo bya Siniya 4 bitandise leero - Ekibadde e Matugga
Oct 16, 2023
Embeeera ebadde ya keetalo ku poliisi y'e Matugga nga abasomesa bazze okukima ebigezo bya bayizi abatandise ebigezo byabwe ebya S4 olunaku olwaleero.

NewVision Reporter
@NewVision
Embeeera ebadde ya keetalo ku poliisi y'e Matugga nga abasomesa bazze okukima ebigezo bya bayizi abatandise ebigezo byabwe ebya S4 olunaku olwaleero.
Zigenze okuwera essaawa 1:30 nga abasomesa bataka ku poliisi y'e Matugga nga bazze okukima ebigezo bya bayizi baabwe eby'akamalirizo.
Omu Ku Basomesa Nga Yeekebera Okuggyayo Ebyetaagisa Okufuna Ebigezo Bino.
Ku mulundi guno teri nkuba etonnye era abasinga bakutte obudde. Abasomesa naddala ab'amasomero ga Gavumenti ababadde bakulembeddwa akulira essomero lya Manze Secondary School Ruth Namaganda bagambye nti beeteeseteese bulungi era asuubizza nti ku mulundi guno abayizi ba Gavumenti baakukola okusinga ab'amasomero ag'obwannannyini.
Bo abasomesa ba masomero ag'obwannannyini nga bakulembeddwa Hassan Balugambe bagambye nti basuubira buwanguzi bwokka.
Atwala poliisi y'e Matugga, Kasim Kakembo yagambye nti tewali musango gwonna gugguddwa ku masomero era ebigezo byatandise bulungi nga tewali kitaataaaganyizza bayizi kukola bigezo byabwe.
No Comment