Wakiso eweereddwa obuwumbi 100 okukola ku nguudo bbiri embi

Apr 08, 2025

ENGUUDO embi ezibadde zitawaanya abantu mu disitulikiti ya Wakiso zandifuuka olufumo oluvannyuma lwa Gavumenti okutandika okuziteekako essira okuzikola kitaase ku kalippagano k’ebidduka akali mu Kampala.

NewVision Reporter
@NewVision

ENGUUDO embi ezibadde zitawaanya abantu mu disitulikiti ya Wakiso zandifuuka olufumo oluvannyuma lwa Gavumenti okutandika okuziteekako essira okuzikola kitaase ku kalippagano k’ebidduka akali mu Kampala.

Wakiso kumpi erina enguudo ezigivaamu ne zigwa ku nguudo ennene ezigenda mu disitulikiti z’ewala, kyokka embeera enguudo zino mweziri ekaabya, nga nnyingi zirina empompogoma ezitaataaganya ebidduka okutambula.

 

Gavumenti ng’eyita mu minisitule ya Kampala n’emiriraano essira yasoose kuliteeka ku nguudo bbiri ezigenda okutandika okukolebwa nga April 24, 2025 nga kontulakiti zaaweereddwa kkampuni z’aba China okuli eya China Railway 7th Group n’eya China Constructions Company.

Enguudo ezigenda okutandikibwako omwezi guno kuliko olwa Bukasa-Sentema-Kakiri oluwezaako 12.9km nga lwakukolebwa kkampuni ya China Constructions Company nga luno Gavumenti yalutaddeko obuwumbi 66.

Oluguudo olulala olugenda okukolebwa lwa Budo-Kitemu-Naggalabi Spur oluwezaako 6.5km nga Gavumenti yalutaddeko obuwumbi 41. Luno lugenda kukolebwa kkampuni ya China Railway 7th Group.

Okusinziira ku akulira eby’okulanga ku disitulikiti e Wakiso, William Mayanja, yagambye nti mu kiseera kino akakiiko akakola ku kontulakiti kali mu kumaliriza enteekateeka zonna okulaba nga April 24 emirimu gitandika.

Yagambye nti enguudo zino bazikwasizza kkampuni ezirudde nga zikola enguudo mu Uganda era nti balina essuubi nti omulimu ogugenda okukolebwa gugenda kubeera ku mutindo ogwa waggulu.

“Naffe nga disitulikti, tugenda kusitukiramu okulondoola emirimu egikolebwa, mu mbeera y’okulaba nti buli ekikolebwa kiri ku mutindo ate nga kye kiri mu ndagaano gye twakola ne kkampuni ezigenda okukola.” Mayanja bwe yayongeddeko.

Yagambye nti basuubira kkolaasi ow’omulembe ku nguudo, amataala agaaka ennyo, ekifo ab’ebigere we bayita, obupande obulagirira abagoba b’ebidduka n’ebintu ebirala.

Ye kkansala omukyala akiikirira Wakiso Town Council ku disitulikiti, Shakirah Nacwa Kakungulu, yagambye nti essanyu balina lingi olw’okuba nti Wakiso bagijjukidde ne batandika okukola enguudo.

“Tweyanzizza nnyo Gavumenti olwa kino ky’ekoze, naye tusaba enguudo nnyingi eziri obubi ate nga za mugaso nnyo ezigatta Wakiso ku nguudo endala nga singa zikolebwa kiyinza okutaasa ku budde abantu bwe bayonoonera mu jjaamu,” Kakungu bweyayongeddeko.

Kyokka ono yagambye nti nga bakwataganye n’olukiiko lwa disitulikiti, bagenda kulondoola buli ekikolebwa okulaba nga tewali gadibe ngalye akolebwa nga bwe kibadde emabega ng’enguudo zikolebwa naye nga zoononeka n’omwaka tegunnawera.

Kakungulu yawadde enguudo endala okuli olwa Kasangati-Matugga-Wakiso, olwa Wakiso-Buloba-Nsangi, Bujuuko-Kakiri n’endala zeyagambye nti singa nazo zikolebwa, abantu abakozesa Mityana Road ne Bombo Road bajja kuba tebatawaana kudda Kampala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});