Yezu eyazuukira lye ssuubi lyaffe ng’abakkiriza

May 04, 2025

AMAZUUKIRA ga Mukama waffe Yezu Kristu gazza buggya okukkiriza kw’Abatume. Mu biseera Yezu bwe yayigirizanga era nga bwetumanyi nti essira yalissanga kukujja kw’Obwakabaka bwa Katonda.

NewVision Reporter
@NewVision

AMAZUUKIRA ga Mukama waffe Yezu Kristu gazza buggya okukkiriza kw’Abatume. Mu biseera Yezu bwe yayigirizanga era nga bwetumanyi nti essira yalissanga kukujja kw’Obwakabaka bwa Katonda.

Bangi baalowoozanga nti Obwakabaka bwa Katonda bwali butegeeza nti Yezu yajja aggyewo effuga bbi ly’Abaroma azzeewo ekitiibwa n’Obwakabaka bw’Abayudaaya baddemu okumanya nti Abayudaaya be baali bokka abantu ba Katonda, abalala basigale nga bakafiiri (Gentiles).
Kyababuukako nti gwe baali basuubira nti ye yajja okuzzaawo ekitiibwa ky’Abayudaaya yattibwa mu ngeri embi ennyo anti okukomererwa ku musaalaba yali nfa y’ababbi n’abajeemu. Ekyavaamu bonna ne bamwabulira, n’afa ng’ataliiko babe.

Bonna ne beekweka, ne baggalawo enzigi zonna okudduka abo abatta Yezu (John 20, 19-31)
Naye Mwoyo eyazuukira, n’ajjula Abatume ne bava gye baali beekwese ne bafuluma ne batandika okuyigiriza abantu nti oyo gwe baali basuubira nti azikiriziddwa, kati mulamu. Amaanyi g’amazuukira gajjula Abatume ne batandika okuvaamu eby’amagero. Abalwadde bawaonyezebwanga. Ebikolwa by’Abatume bitugamba nti ekisikirize obusikirize ekya Peter kyawonyanga abalwadde! Bangi abaagobereranga ne beegatta ku muwendo gw’abakkiriza, omuwendo ne gwogera okugejja. (Ebikolwa 5:12-16).

Bino byonna nga biva mu kukkiriza nti Yezu tazikiriranga, mulamu.
Amaanyi g’okukkiriza nti Yezu mulamu gaali tegazibibwa kkubo. Evangiri etugambye nti Abatume abaali mu kutya nga beggalidde, Yezu yajja n’abayimiriramu wakati n’abagamba nti emirembe gibeere ku mmwe muveemu okutya. Mufune Mwoyo Mutuukirivu, muve mu ffuga bbi ly’ekibi era ebibi byonna byemunaasonyiwanga nga bisonyiyiddwa. Toma eyali agaanyi okukkiriza amawulire ag’okuzuukira.


Omukama n’amugamba nti Toma teeka engalo zo mu lubiriizi lwange. Lekera awo obutakkiriza. Toma teyakwata mu lubiriizi lwa Yezu, naye yaddamu buzzi mu kukkiriza okungi nti Mukama wange Katonda wange. Ebigambo biraga nti Toma Toma yandibadde akkiririzaawo.
Bakristu baganda bange ffenna tukkirize nti Yezu yazuukira, tuleme kwesiga nti okulaba kwaffe kwe kutulokola. Tukkirize enjigiriza y’Abatume, y’Ekerezia nti Yezu yazuukira ate mu kukkiriza mwet usuubira okuyingira mu bulamu obutaggwaawo.
Mbaagaliza Ssande ennungi

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});