Mulimu omugole eyayiye bba ku lunaku lw'okubagatta mu kkanisa omusajja n'azirika.
Aba Ttakisi beesibe bbiri: Tukuleetedde amateeka amakakali 17 ab'ekibiina kya UTOF abaasikidde UTODA ge babataddeko.
Abayizi P7 babateereddemu SET II eya Bukedde PRE- PLE Examination okwetegekera obulungi ebigezo by'akamalirizo nga ku luno bakola Integrated Science.
Mu Yiiya Ssente tukulaze engeri ebiragiro aba URA bye batadde ku muceere bwe bisattiza abasuubuzi.
Ng'embaga ya Kyabazinga eyengedde, aba NUP batutte obukadde bwa ssente okuyamba mu kuteekateeka.
Mu Byemizannyo: Tukukubidde ttooki mu nsiike za Carabao Cup, Arsenal bw'eneeba ettunka ne West Ham so nga ManU ekomawo ku kikaliriro bw'eneeba ettunka ne Newcastle.
Gano n'amalala mu Bukedde w'Olwokusatu ng'agula 1,000/- zokka.