Amawulire

Aba UPDF batenderezza omukago gwabwe n'eggwanga lya America ogw'obujjanjabi

EDWALIRO ekkulu ery’eggye lya UPDF e Mbuya likakasizza nga bweryatta omukago n’e ggwanga lya Amerika okutuusa obujanjabi eri abajaasi wakati w’amawanga gombi.

Aba UPDF nga bali mu meeting
By: Joseph Mutebi, Journalists @New Vision

EDWALIRO ekkulu ery’eggye lya UPDF e Mbuya likakasizza nga bweryatta omukago n’e ggwanga lya Amerika okutuusa obujanjabi eri abajaasi wakati w’amawanga gombi.

Ekibinja kya bakungu okuva mu ggwanga lya Amerika abazze wano mu Uganda bakulembeddwamu minisita omubeezi avunaanyizibwa eri abo abakozeddwa mu by’obulamu mu ntalo Dr Stephen Ferrara. 

Avunaanyizibwa ku by’obulamu mu ggye lya UPDF Maj Gen Dr. Ambrose Musinguzi yatenderezza nnyo  nnyo amakula omukago guno gwebatta n’e ggwanga lya Amerika  bweguyambye okutumbula eby’obulamu bya bajaasi baffe bukyanga bagutta.

UPDF

UPDF

“Tulina amalwaliro abiri getwateekawo oluvannyuma ly’obuvugirizi okuva mu ggwanga lya Amerika. Erimu liri mu nkambi y’a maggye ga UPDF e Somalia n’eddala mu ttendekero lya UPDF e Jinja” Maj Gen Dr. Ambrose Musinguzi bweyategezezza.

Bino babyogeredde ku mukolo ogwabadde ku ddwaliro lya UPDF ekkulu e Mbuya ku Lwokusatu nga Novermber/19/2025 omwetabiddwamu n’abanenne okuva mu    ggye lya UPDF abenjawulo.

Maj Gen Dr. Ambrose Musinguzi yalaze okugenda mu maaso mu by’oby’bulamu okutukiddwako omukago guno omuli okutangira akawuka ka siriimu mu bajaasi                  n’okwetegekera enddwadde zinamutta wansi w’ekitongole kya “Africa Peace Rapid Response Partnership program ‘(APRRP).

Mu bamu ku bakugu mu by’obulamu mu ggye lya UPDF ababaddewo ku mukolo kuliiko Col Dr. Edwin B. Bagashe, Col Deborah Nayebare, Col Silas M. Kamada, Maj Dr. Luwada, and Lt Col Hon Evelyn Asiimwe n’abalala