Amawulire

Poliisi ekyagenda mu maaso n'okubuuliriza mu musajja agambibwa okuba omubbi wa wire

Poliisi ekyagenda mu maaso n'okubuuliriza mu musajja agambibwa okuba omubbi wa wire n'ebyuma by'amasannyalaze, amasannyalaze gwe gattidde waggulu ku kikondo. 

Amasannyalaze
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi ekyagenda mu maaso n'okubuuliriza mu musajja agambibwa okuba omubbi wa wire n'ebyuma by'amasannyalaze, amasannyalaze gwe gattidde waggulu ku kikondo. 

Bino byabadde Nakapinyi mu muluka gw'e Kasenge mu Ggombolola y'e Nama e Mukono. 

Kigambibwa ekibinja ky'ababbi, baabadde bagezaako okubba ebyuma okuyita wire z'amasannyalaze agamaanyi, nti omu ne gamukubira waggulu n'afiirawo. 

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika ng'okuyigga abalala, kukolebwa