Meeya w’e Nansana, Ssalongo Joseph Matovu yewuunyisizza abaabadde bamwegese amaaso bw’agambye nti, ekitundu ky’akulembera kirimu basereebu bangi naye tebamuwulira bamputtu.
Matovu yagambye nti okuggyako Pasita Wilson Bugembe ne Sarah Short, basereebu bangi baamusobera tebawulira.

Pr Bugembe asula Nansana
Yatandikidde ku MC Mariach abeera eyo mu ka ghetto ke yafunza n’atandikayo ne ke yayise ka ttiimu k’omupiira wabula nti tagenda mu nkiiko za kitundu.
Ssenga Ssebbanga nti takyamulaba okuva lwe baggalawo ebbaala ya Big zone gye yazannyiranga komedi kyokka naye gy’abeera.
Bwe yajjukidde ebya Seeka Umar essaawa eno ali mu kkomera ate kyamususseeko ng’agamba nti, kirimu obuzzi bw’emisango mu bassereebu kyokka nti abamu babawaayiriza.

Mariach naye asula Nansana
Kazannyirizi omulala Maama Sam naye abeera e Nansana- Gganda naye tamulaba.
Medard Rukundo nannyini bbaala ya Big zone naye era sereebu amaze ebbanga ng’akunganyizaawo abayimbi ne bannakatemba kyokka Nansana yatabuse ne batuuka n’okuggala ebbaala ye olw’amabanja.
Matovu eyabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’okutongoza bbanka ya DMK Capital microfince ewola ssente ne bodaboda e Nansana, abalala be yayogeddeko ab’empisa ye Peter Njegula taata kazannyirizi Paddy Bitama (yafa). Maama Lususu naye w’e Nansana