Amawulire

Kibuli egguddewo eddwaaliro eddala e Kabasanda

EDDWAALIRO ly’e Kibuli lyongedde okusembeza empeereza yaalyo mu bantu ba bulijjo.

Nakibinge (owookusatu ku ddyo) ng’aggulawo eddwaaliwo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

EDDWAALIRO ly’e Kibuli lyongedde okusembeza empeereza yaalyo mu bantu ba bulijjo.
Mu nkola eno gye baatandikako emyaka 10 egiyise, abakulira eddwaliro lino bongedde okusaasaanya amalwaliro agali wansi waabwe mu bitundu eby’enjawulo  mu ggwanga.
Wiiki ewedde, Omulangira Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu era omutandisi w’eddwaaliro ly’e Kibuli ng’ali n’abalikulira, bagguddewo ettabi ly’eddwaaliro lino
eddala e Kabasanda mu disitulikiti y’e Butambala. Mu kwogera kwe,   Dr. Nakibinge yasabye Gavumenti okwongera amaanyi mu mpeereza y’ebyobulamu bye yayogeddeko ng’ebiri mu mbeera embi. “Gavumenti esaasaanya ensimbi nnyingi nnyo ku bantu baffe abalwala nga balina kutwalibwa mu mawanga g’ebweru, noolwekyo, nsaba be kikwatako okufaayo ku nsonga eno,” Nakibinge bwe yategeezezza.
Yasabye abakulira minisitule y’ebyobulamu okufaayo ennyo okuyamba ku malwaliro
 ag’obwannannyini nga bagassan mu bajeti ya buli mwaka kikendeeze ku nsimbi amalwaliro gano ze gakanda abalwadde.
Yasiimye abantu abawaayo ettaka eri eddwaaliro ly’e Kibuli okusobozesa abalikulira
okusaasaanya amatabi mu bitundu eby’enjawulo. Nakibinge yayogedde ne ku byokulonda okubindabinda n’asaba abalonzi n’abeebyokwerinda okukuuma emirembe.
Dr. Muhamoud Al Ghazal, akulira eddwaaliro ly’e Kibuli, yasabye Gavumenti okutereeza ensonga y’amasannyalaze gye yagambye nti y’emu ku bisinga okulinnyisa emiwendo eri abalwadde kuba baba bakozesa amafuta mangi nnyo buli lunaku.
Haji Buzindadde eyawaddeyo ettaka okwazimbiddwa eddwaaliro
lino, yagambye nti yakikoze lwa kwagala okusembereza bantu b’e Kabasanda obujjanjabi obw’amangu.