MMENGO eri mu kusatira olw’omukyala eyafuna ekyapa ekyokubiri ku ttaka lya Kabaka erisangibwa e Nsazi, Kkoome mum Ssaza ly’e Kyaggwe eriwerako yiika 660.
Kino kyasitudde Baminisita ba Kabaka okusitukiramu okugend okulirambula wiiki ewedde okulaba embeera y’ettaka lino, Victoria Namusisi kw’ayagala okugoba abantu abasoba mu 200 ng’ate Buganda Land Board ebamanyi ng’abasenze abatuufu.
Baminisita bano baakulembeddwaamu Minisita w’ettaka n’ebizimbe, David Mpanga, Ssaabawolereza wa Buganda Christopher Bwanika, Ow’obuwangwa, ennono n’obulambuzi Dr. Anthony Wamala saako abakungu okuva mu Buganda Land Board abaakulembeddwa akulira emirimu, Simon Kaboggoza ne Kamisona mu gavumenti
ez’ebitundu, Harris Lubega. Bwe baatuuse eno, Omutongole Kate Nantongo yababuulidde nga bwe bali ku bunkenke olw’okutya okusengulwa ng’ate bamaze mu
kitundu kino ebbanga. ‘Freehold’ tesobola kutuula ku mayiro, emu yali nzungu n’egandawala, kwe kuwulira ekigambo mayiro; eri endala- Freehold yasigala nzungu nga n’okuboola eboola teyagala bantu, eyagala nnannyini omu yekka gw’eyagala ku kyapa era abeera yekka, tekubeerako muntu mulala alina buyinza kubeera na kibanja,” Mpanga bwe yannyonnyodde abatuuze. Mpanga yayongedde n’ababuulira ng’ekola ya
mayiro bwe yava e Bungereza okuva mu kigambo ‘square mile’ ne kifuuka ekigambo mayiro era n’egandawala nga mu kino esembeza abantu bonna ng’emanyi bulungi nti,
kubeerako abatuuze baakwo.
Ku ntandikwa y’omwezi gw’ekkumi omwaka guno, Kabaka Mutebi II yalambula ekizinga kino mu lugendo lw’okwetegereza embeera mweriri n’ey’abantu be. Baalambudde ebitundu ebiwerako ku kizinga kino, emirimu egikolebwa egiwerako, ebifo eby’ennono ate n’ebyo ebyeyambisibwa mu buweereza bwa gavumenti ez’ebitundu e Mmengo.
Okusinzira ku mbeera gye baazudde n’ebyo bye baalabye, Mpanga yagumizza abatuuze
nga bwe bagenda mu minisitule y’ebyettaka mu gavumenti eya wakati, esazeemu ekyapa ekyakolebwa ku mayiro ya Kabaka mu bukyamu. Ettaka ly’e Nsazi liri kitundu ku ttaka lya Kabaka eryatwalibwa mu 1966 oluvannyuma lw’Obwakabaka okuggyibwawo kyokka by’ebimu ku bintu ebyakomekebwawo mu 1993 nga buzzeewo.
Ffamire ya Namusisi yalina liizi okuva mu Uganda Land Commission ku kitundu ky’ettaka lino kyokka Mmengo egamba nti, yali eneetera okuggwaako, ne bakola
olukujjukujju okufuna ekyapa kya ‘Freehold’ ku ttaka lino. Kino bwe kyakolebwa, Mpangam yagambye nti, Namusisi yakwata ekifo awaabeeranga enju y’Omutongole n’agimenyawo nga yazimbyewo enju ye!