ABASOMI b’olupapula lwa Bukedde bongedde okujjuza akakonge basobole okuwangula ebirabo ebiteereddwaawo mu kalulu ka Gabula Ssekukkulu mu Vvayibu ak’omwaka guno.
Omuserikale Fred Katongole y’omu ku basazeewo okwetaba mu kalulu kano ng’ajjuza akakonge okusobola okwewangulira ku birabo Katongole nga ddereeva mu poliisi yagambye nti yali omu ku basimattuka bbomu ezaakubwa kub poliisi ya CPS mu Kampala yagambye nti akalulu ka Gabula Ssekukkulu takasubwa buli mwaka ajjuza era ku buli mulundi abaako ebirabo by’awangula.
Wabula yagambye nti ku mulundi guno ekirooto ky’alina kwe kuwangula ekyapa ky’ettaka ekyateereddwaawo aba B Clara H Property Services Ltd, abasangibwa ku ETower ku Kampala Road n’e Kyengera ku luguudo oludda e Masaka.
Ebirabo eby’okuwangula mu kalulu ka Gabula Ssekukulu kuliko ttivvi 25 okuva mu kkampuni ya StarTimes ng’eriko dikooda, ekisowaani n’amasannyalaze ga Solar nga byonna awamu bibalirirwamu 2,500,000/- nga byakuwangulwa bannamukisa
25.
Anaawangula ekyapa ky’ettaka okuva mu kkampuni ya B Clara H Property Services Ltd bamuteereddeko amatoffaali ne seminti. Kkampuni ya Ugachick nayo etegekedde abasomi ba Bukedde enkoko ze banaalya ku Ssekukkulu, ssaako ebirabo ebirala. Gula olupapula lwa Bukedde ku 1,000/-, ojjuze akakonge akasangibwa ku muko ogwokubiri, owangule ebirabo