Gavt. etadde obukwakkulizo ku nnamba puleeti za ‘digital’ ze yatongozza

Nov 04, 2023

GAVUMENTI etongozza nnamba za mmotoka empya eza ‘Digital’ n’obukwakkulizo okuli n’engassi eri oyo abeera agezaako okuziggya ku kidduka.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

GAVUMENTI etongozza nnamba za mmotoka empya eza ‘Digital’ n’obukwakkulizo okuli n’engassi eri oyo abeera agezaako okuziggya ku kidduka.

Ying. Kharim Kibuuka nga yaali mu nteekateeka y’ennamba zino mu minisitule y’ebyenguudo n’entambula yagambye nti; Ssinga ennamba eba efunye obuzibu okugeza ng’emmotoka efunye akabenje, nnannyini mmotoka ateekwa okutuukirira avunaanyizibwa ku bidduka (Chief Licensing officer) obutasussa ssaawa 24 n’aloopa ekituuse ku nnamba ye, kubanga ssinga ennamba efuna ekizibu kyonna kyangu obuuma obulondoola mmotoka okwonooneka.

Nnamba puleeti eza ‘digital’ zombi zassiddwaamu akuuma (chip) akalondoola wonna mmotoka oba nnamba weeba.

Wateekeddwaawo engassi ya 200,000/- eri oyo anaazuulibwa ng’agezaako okukwata mu buuma buno kubanga buli lw’ogezaako okukakwatako baba bakalaba.

Tewali akkirizibwa kuggya nnamba zino ku mmotoka okuli n’abatulafiki ku nguudo.
Mmotoka bw’eba yeetaaga okugololwa oba okukanikibwa nga kyetaagisa okusooka okuggyako nnamba puleeti, olina kweyambisa galagi eyaweebwa layisinsi.

Gen Katumba Wamala minisita w’ebyenguudo n’entambula yatongozza nnamba puleeti zino ku kitebe kya minisitule n’agamba nti zigendereddwaamu kunyweza bya kwerinda.

Yagambye nti ebidduka ebiba byakayingizibwa mu ggwanga byakusasula 714,000/- ez’ennamba zino, kyokka ezaamala edda okufuna ennamba zaakusasula 150,000/-okufuna ennamba ya ‘digital’.

Pikipiki ezaamala edda okuteekebwako ennamba zaakusasula 50,000/- zokka.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});