Poliisi e Luweero, ekyagenda mu maaso n'okukunya omusomesa n'abaddukanya amasomero abalala babiri, abagambibwa okugezaako okukoppera abayizi ba S4 ebigezo .
Abaakwatiddwa kuliko; Dalton Dennis Lubega omusomesa wa Midland High School e Luweero kyokka nga y'abadde akola nga chief Invigilator ku Goshen Secondary School , Victoria Model ne Sharma S.S e Luweero.
Abalala abakwatiddwa y'amyuka akulira essomero lya Midland High School e Luweero Zawadi Bwambale wamu n'akulira amasomo ku ssomero eryo Midland High e Butamba Mukono Herbert Woopo.
Omwogezi wa UNEB Jennifer Kalule - Musamba agambye nti kigambibwa nti Lubega , nga yeyambisa essimu ye, bakira akuba ebifaananyi ku mpapula za S4 ezabadde zimaze okusumululwa okuli olwa commerce ne Entrepreneurship nga bw'aweereza banne bali ababiri.
Mu ngeri y'emu era poliisi ekutte Tom Okwenyi eyaliko omusomesa ng'akolera ekitongole kya Multi - national Agency .
Kalule agamba nti ono yasasaanyizza ye bye yayise ebigezo bya PLE ku mukutu gwa Elite SST Senior Examiners okuli abagoberezi abasoba mu 1,500.