OMUWALA, omusajja gwe yaggye mu bbaala n’amutwala awaka, atisse eby’omu nju
byonna wabula n’akwatibwa. Akkirizza omusango n’asindikibwa ku limanda e Luzira.
Rehema Muyama 26 ow’e Nansana mu Wakiso, omukozi mu bbaala, yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Adams Byarugaba owa kkooti ya Nateete - Lubaga eyamusomedde
ogw’obubbi n’agukkiriza. Kyategeezeddwa nti mu kiro kya October 25, 2023 mu bbaala emu e Lusaze, Frank Mokich Talema yali agenze okunywamu no gye yasanga Muyama
n’asula ewuwe ekiro kyokka enkeera n’abba ttivvi bbiri, emizindaalo, akuuma akakamula juyisi, engatto emigogo ena, empale nnya, amasuuti, ne ssente enkalu 1,750,000/