Robina Zimba anyumya nti :
Nnalina omukozi, yasooka n’abeera mulungi, naye bwe yamala n’anfuukira ekizibu, yafuna emikwano nga buli kiseera abeera mu kwenjeera nga n’abaana awaka takyabafaako, nga ne ssente ze mmuwa alaba ntono, ηηenda okudda awaka oluusi nsanga abaana nga tebannanaaba n’emmere ng’agibawa kikeerezi.
Bwe namunenyako n’alufuula olutalo ng’awaka yeeyisa nga muggya wange, omugamba kino takunyega kubanga omunenyezzaako, era yandabiriza n’anziba ssente obukadde bubiri n’emitwalo 70 ze nnali ntereka awaka n’adduka n’agenda.