Ssaabasumba agguddewo Klezia ya Yezu Kabaka ; ewemmense obuwumbi 20 n'omusobyo!

Nov 20, 2023

Klezia eno esangibwa ku Luguudo lwa Colville (ekibanja 14) emaze ebbanga lya myaka nga 5 ng’ezimbibwa

NewVision Reporter
@NewVision

Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Omutiibwa Paulo Ssemogerere agguddewo mu butongole era n’awa omukisa Klezia y’ekigo kya Yezu Kabaka empya.

Klezia eno esangibwa ku Luguudo lwa Colville (ekibanja 14) emaze ebbanga lya myaka nga 5 ng’ezimbibwa era ng’emazeewo obuwumbi bw’ensimbi za Uganda obukunukkiriza mu 20.

Munsennooli Kalumba (ku Ddyo) Ng'ayambako Ssaabasumba Ssemogerere Okuggulawo Wankaaki Ya Klezia Ya Yezu Kabaka.

Munsennooli Kalumba (ku Ddyo) Ng'ayambako Ssaabasumba Ssemogerere Okuggulawo Wankaaki Ya Klezia Ya Yezu Kabaka.

Etuuza abantu nga 1,700. Newankubadde nga Klezia eno Abakristu babadde baatandika dda okujikozesa, ebadde tennakolwako mikolo gya Klezia nga bwe kisaanidde okubeera.

Bwe yabadde ayigiriza mu Mmisa, Ssaabasumba Ssemogerere yatenderezza nnyo Abakristu b’ekigo kino olw’omutima omugabi era ogwagala eddiini yaabwe.

Yategeezezza nti ekya Klezia eno okuba nti ezimbiddwa awatali buyambi buvudde bweru kiraga nti ebigo bya wano bisobola okweyimirizaawo nga tebagenze kusabiriza bweru.

Klezia Bw'efaanana Munda.

Klezia Bw'efaanana Munda.

Omukolo gwetabiddwaako ab’ebitiibwa bangi okwabadde Bassabalamuzi abawummuze, Benjamin Odoki ne Bart Katureebe, munnabyanfuna Dokita Emmanuel Katongole, minisita w’ebyobusuubuzi n’amakolero Francis Mwebesa, Omuserikale wa Paapa Regina Regius Yiga, Omukung’aanya w’olupappula lwa Bukedde Michael Ssebowa, n’abagenyi abaavudde e Bugirimaani.

Bp. Ssemoegerere Ng'ayokera Obubaani Ku Alutaari Ya Klezia Ya Yezu Kabaka.

Bp. Ssemoegerere Ng'ayokera Obubaani Ku Alutaari Ya Klezia Ya Yezu Kabaka.

Abayindi Abagoowa nga bano be baasooka okusomeranga mu kigo kya Yezu Kabaka nga kyakakubibwa mu 1930, nabo baakiikiriddwa.

Ffamire y’omugenzi Henry William Ssentoogo ng’ono ye yakuba ppulaani ya Klezia ya Yezu Kabaka y’akiikiriddwa mukyala we Mildred Ssentoogo n’abaana, ate kkampuni ye (Ssentoogo and Partners) n’ekiikirirwa omukubi wa ppulaani Emmanuel Kayanja.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});