ABADDE bwanamukulu w’ekigo ky’e Rwebisiriza, Fr. Lawrence Mudduse afiiridde mu kabenje n’annyogoza abatuuze b’oku kyalo Kasimooni ekisangibwa mu Wattuba Town Council mu disitulikiti y’e Kyankwanzi.
Rev. Fr. Lawrence Muduse yafunye akabenje ku Ssande ng’ava e Mityana adda Rwebisiriza gy’abadde akolera.
Kigambibwa nti ku Ssande yasiibye ku Lutikko e Kiyinda ku bijaguzo by’essaza, gye yavudde n’ayolereka e Kyankwanzi ng’obudde buwungeera.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Racheal Kawala yagambye nti ttakisi ekika kya Drone nnamba UBN 282P yatomereganye n’emmotoka ya faaza ekika kya Suzuki nnamba UAW 369C era ddereeva wa Drone eyategeerekese nga John Paul Nabiirwa, yafiiriddewo, ate faaza n’atwalibwa mu ddwaaliro e Kiboga, abaamwongeddeyo e Nsambya wabula n’afa nga tebannamutuusa.
E Rwebisiriza, Fr. Mudduse abadde yaakakolerayo okumala emyezi ebiri gyokka ng’eno yatwalibwayo ng’ava mu Seminaliyo enkulu e Kinyamashika e Fort Portal. Nga tannagenda Fort Portal, yakolerako mu bigo nga Buyambi ne Mubende.
Bannaddiini ku Mmande baatudde mu lukiiko olw’enjawulo okutegeka okuziika okugenda okubaawo enkya ku Lwokusatu.
Omugenzi abadde muwandiisi wa bitabo naddala ebyobuwangwa n’Oluganda ng’alina ne by’awandiise ku bantu abenjawulo nga Kalidinaali Wamala.