MUNNAMATEEKA Ladslus Rwakafuuzi akyakandaalirizza eky’okukakasa emisango gy’okutta eyali omwogezi wa Poliisi Andrew Felix Kaweesi egivunaanibwa abantu7 olw'okubeera omukosefu.
Bino byabadde mu maaso g’omulamuzi Alice Komuhangi owa kkooti enkulu ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna e Wandegeya abavunaanibwa bano okuli Bruhan Baryejusa,Yusuf Siraje Nyanzi,Abdul Rashid Mbaziira ,Aramanzan Noorden Higenyi,Yusuf Mugerwa ne Joshua Kyambadde ku nsonga z'okumany ebifa ku musango guno.
Kyoka omuwaabi wa gavumenti Richard Birivumbuka yategeezezza kkooti nga munnamateeka Rwakafuuzi bwatannateekamu ndowooza ye ku by’emisango gino oba gikakasibwa oba nedda era kye kimu ne ku munnamateeka David Kasada.
Wabula ye Kasada yateegezezza ng’abweyafuna obujulizi obukwata ku musango guno ng’obudde buyise wamu n’okufuna ekiragiro kya kkooti.
Bwatyo yasabye kkooti okubongerayo ku budde era n'ategeeza nga munnamateeka Rwakafuuzi bwatali bulungi mu mbeera y’obulamu bwe naye agenda kufuna munnamateeka omulala amuyambeko okutukiriza ebiragiro bya kkooti eno.
Asabye kkooti okumuwaayo wiiki emu ate ye Rwakafuuzi n'asaba awebweyo wiiki bbiri ,bwatyo omulamuzi akiriziganyizi n'okusaba kwa Kasada n'amulagira aweeyo endowooza ye obutasuka December,8,2023 ate ye Rwakafuuzi atekeemu eyiye obutasuka December,11,2023.Omusango gwongezeddwayo okutuusa nga March,4,2024.
Abantu bano bavunaanibwa emisango etaano okuli egy’obutemu 3, okubba n’okubeera abatujju nga gino kigambibwa gyazzibwa nga March,17,2017 mu bitundu bye Kulambiro omuli okutta eyali omwogezi wa Poliisi Felix Kaweesi ,omukuumi we Kenneth Erau ne Dereeva we Goffrey Wambewa