Ssemaka azzeeyo mu maka gyeyanobera ne bamutwala entyagi n'engege z'abadde abatwalidde ne bazimugobya

Ssemaka azzeeyo mu maka gyeyanoba mu December omwaka oguwedde, maama n'abaana bamutwalaganyizza n'engege zeyabadde abatwalidde yetonde bazimugobezza. 

Zevirio Mukaaga eyasuulawo mukyala we
By Saul Wokulira
Journalists @New Vision

Ssemaka azzeeyo mu maka gyeyanoba mu December omwaka oguwedde, maama n'abaana bamutwalaganyizza n'engege zeyabadde abatwalidde yetonde bazimugobezza.

Zevirio Mukaaga 59, maze emyezi munaana nga yasuulawo mukazi we Eunice Nekesa 47 nga yagenda n'azimbawo akayumba ka kyuyi kimu ku kiggya mweyanobera.

Maama w'abaana agambye nti Mukaaga ali ku bukodyo kubanga alaba sizoni y'emwanyi yawedde kwekwagala yezze ate sizoni bw'enaatuuka n'afunamu ku ssente nga yecanga buto. Bano batuuze ku kyalo Kakiika mu ggombolola y'e Kayonza mu disitulikiti y'e Kayunga.

Omukazi yaloopye ewa Collins Kafeero ow'amaka, abaana n'eddembe ly'obuntu olwa okwagala okudda ku kifuba era Kafeero agenze ku kyalo n'abatuuza.

Mukaaga agamba nti awulira oluvuvuumo nti maama w'abaana be yatandika okubaliga kyeyavudde asalawo addeyo eka nga aguze n'enva kyokka ne bamukolako olutalo ne bamugobaganya wabula naye yalese abakubye nga feesi y'omukazi ewulubadde.

Omukyala Eunice Nekesa eyasuulibwawo bba

Omukyala Eunice Nekesa eyasuulibwawo bba

Abaana bawadde obujulizi ku kitaabwe okukolanga effujjo ku nyabwe wabule ne kitaabwe 'abalumiriza okumubbako emwanyi.

Mukaaga agamba nti yasooka n'ayogera ne mukazi we ku bya Mukaaga okudda mu maka omukazi n'assaawo akakwakkulizo nti omusajja asooke kwekebeza omusaayi ekintu Mukaaga kyeyakola era ebyavaamu n'abimulaga.

Wadde Mukaaga yekebeza omusaayi omukazi akalambidde nti ye yamukoowa olw'effujjo ly'akola omuli n'okusombanga abawala aba buli langi bw'afuna ku ssente z'emwanyi era zimala kumuggwako n'atereera.

Kafeero alagidde famire eno ekomye effujjo omusajja akomye okulumba omukazi ne maama n'abaana be bakomye okukuba omusajja bwe bakiddamu wakubaggalira.

Ku byokuddamu okwekebeza Kafeero asuubizza Mukaaga okumutwa mu ddwaliro eddene e Kayunga abasawo beekebejje omusaayi gwe omukazi aggweemu aka ttoma.

Era abuuliridde abaana bakomye okulwana ne kitaabwe wabula bamusseemu ekitiibwa ekimugwanira.