Amawulire

Muganda wa Majid Musisi afudde n'aleka ekiraamo ekikakali

MUGANDA w'omugenzi Majidu Musisi eyali omusambi w'omupiira afudde n'aleka ekiraamo ekikakali , yalaama obutamuteeka mu kkeesi, alina kuziikibwa mu mbugo , abalasita be balina okukola omukolo gw'okumuziika .

Muganda wa Majid Musisi afudde n'aleka ekiraamo ekikakali
By: Moses Lemisa, Journalists @New Vision

MUGANDA w'omugenzi Majidu Musisi eyali omusambi w'omupiira afudde n'aleka ekiraamo ekikakali , yalaama obutamuteeka mu kkeesi, alina kuziikibwa mu mbugo , abalasita be balina okukola omukolo gw'okumuziika .

Isa Mukasa Semakula 52  abadde amanyikiddwa nga Rasta Mukasa abadde omutuuze mu Ssebina zooni ku Kaleerwe mu minisipaali y'e Kawempe yafiiridde mu ddwaliro e Mulago ku Mmande oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya kkansa w'amawugwe .

Omugenzi Mukasa Ssemakula

Omugenzi Mukasa Ssemakula

Amaka ga Deborah Namutebi Maama W'omugenzi

Amaka ga Deborah Namutebi Maama W'omugenzi

Abakungubazi Nga Basaasira Namutebi Maama W'omugenzi (1)

Abakungubazi Nga Basaasira Namutebi Maama W'omugenzi (1)

Debora Namutebi maama w'omugenzi yagambye nti Ssemakula yazannyirako omupiira mu Mulago FC n'omugenzi Magidu Musisi oluvannyuma Ssemakula yadda mu muzannyo gw'ebikonde nga waafiiridde abadde yabiwummula.

Edirisa Mukiibi omu ku batabani b'omugenzi omukubi w'ebikonde mu Kololo Boxing Club yategeezezza nti kitaawe ye yasinga okumusikiriza okuyingira omuzannyo gw'ebikonde.

Mukiibi Mutabani W'omugenzi

Mukiibi Mutabani W'omugenzi

Edirisa Mukiibi Ow'okubiri Okuva Ku (kkono) Mutabani W'omugenzi Omukubi W'ebikonde Mu Kololo Boxing Club

Edirisa Mukiibi Ow'okubiri Okuva Ku (kkono) Mutabani W'omugenzi Omukubi W'ebikonde Mu Kololo Boxing Club

Yagasseeko nti kitaawe yazaalibwa mu famire y'Abasiraamu kyokka yagaana okumuziika mu Kisiraamu yalaama nti Abarasta be balina okukulemberamu omukolo gw'okuziika, yalaama obutamuziika  mu kkeesi , yalaama bamuziike mu mbugo zokka kye yagambye nti abaffamire baakikkirizza.

Omugenzi waakuziikibwa ku kyalo Kasana mu disitulikiti y'e Mukono , yagaana okusaako esuuka (looti). Omugenzi yalese abaana n'abakazi.