Aboolouganda bakubaganye lwa nnyumba ya nnyaabwe

ABOOLUGANDA babiri bakaabidde mu kkooti omukulu ng'alumiriza muto we okumuggunda agakonde n'ensambaggere olw'okumugambako okuleeta abantu mu nnyumba ya nnyabwe omugenzi eyaakafa mu August w'omwaka guno gye yabalekedde.

Solomon Ssebalu ng'ali mu kaduukulu
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision
ABOOLUGANDA babiri bakaabidde mu kkooti omukulu ng'alumiriza muto we okumuggunda agakonde n'ensambaggere olw'okumugambako okuleeta abantu mu nnyumba ya nnyabwe omugenzi eyaakafa mu August w'omwaka guno gye yabalekedde.
 
Solomon Ssebalu 39, akola ng'omuwabuzi mu byenfuna mu kkampuni ya Yinsuwa eya UAP nga mutuuze w'e Busega Central B zzooni y'aleeteddwa mukulu we Isaac Kateregga mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo ng'amuvunaana okumukuba n'amutuusaako ebisago ebyamanyi.
 
Bino byabadde mu maaso g'omulamuzi Adams Byarugaba eyagumusomedde n'abakuutira okwewala okulwanagana singa baakusigaza Oluganda.
 
Olwamaze okusomera muto we, Kateregga yatulise n'akaaba nga bw'ategeeza omulamuzi nti teyalibadde Ssebalu kumukuba kyokka nga y'abadde amulabirira bukya nnyabwe afa mu August 2023.
 
Yategeezezza nti n'ekisinga okumuluma kwe kuba nti nnyabwe yabalekera ennyumba ya bisenge munaana kati ye muto we n'amusindikiriza mu mizigo gy'awaka ennyumba n'agiteekamu mikwano gye n'atakoma okwo nga buli lw'amugambako ate amukuba.
 
Ssebalu mu kaguli mwe yabadde, yayunguse amaziga n'akaaba wabula n'asaba okweyimirirwa Omulamuzi kye yakkirizza n'amuyimbula ku kakalu ka kakadde kamu ezoobuliwo n'abamweyimiridde obukadde 10.
 
Bwe yabadde amuyimbula, omulamuzi Byarugaba yamukuutidde okukuuma empisa kuba teri waaluganda mulala gw'agenda kufuna singa atta ono nga bw'alumirizibwa.