Nnali sirina kyendi, kye mulaba leero Katonda y'ayambye n'ankwatako - Sipiika Among
Dec 24, 2023
Nnali sirina kyendi, kye mulaba leero Katonda y'ayambye n'ankwatako - Sipiika Among

NewVision Reporter
@NewVision
SIPIIKA wa palamenti Anita Among asoomozezza ababaka ba palamenti okukulaakulanya ebitundu gye bava n'agamba nti omulimu gw’okukulaakulanya eggwanga tebalina kugulekera gavumenti yokka.
Among bino abyogeredde ku mukolo gw’okuyimba ennyimba z’obuwanga ebibiina by’abayimbi eby’enjawulo mwe bivuganyizza mu ggombolola y’e Bukedea mu disitulikiti y’e Bukedea.
Ebimu Ku Bizimbe Ku Ddwaliro Erigenda Okugulwawo
Ebimu Ku Bitanda Mu Ddwaliro Erigenda Okugulwawo.
Sipiika Anita eno alambudde n’eddwaliro ly'azimba ku mutendera gwa Referral kwossa n’ekisaawe ky’ebyemizannyo era nga awadde SACCO za bbooda obukadde 50 n’ezaabayimbi nazo obukadde 50.
Agambye nti kiba kya buswavu omuntu okulekawo ekitundu gy'ava n’agenda okukulaakulanya ekitundu ekirala n'aleka abantu be nga bakolimirira gavumenti olw’obutabafaako.
Sipiika Among Nga Akutte Obukadde 50 Ez'okuwa Ebibiina Bya Ba Booda
Sipiika Wa Palamenti Anita Among Nga Ali Wamu N'ababadde Banna Fdc Mu Bukedea Abasaze Nebadda Mu Nrm. Edith Namayanja
Akasana Tekabalemesezza Kujja Kulaba Ku Sipiika
Among wano w'asinzidde n'awa obujulizi nti ye muntu Mukama gw'akutteko kubanga yali talina bw'ali wabula Katonda n'amufuula omwana gattako n’okumusisinkanya ne Pulezidenti Museveni amufudde omuntu ow’amaanyi ayogerwako buli wamu.
No Comment