Obuwumbi 432 n'obukadde 600 ze zikakasiddwa ssaababalirizi wa Gavumenti okuliyirira UMEME
Mar 29, 2025
SSAABABALIRIZI w’ebitabo bya gavumenti, Edward Akol ayanjulidde sipiika wa palamenti alipoota ku nsimbi ezenkomeredde gavumenti z’eteekeddwa okuliyirira kkampuni ya UMEME obuwumbi 432 n’obukadde 600.

NewVision Reporter
@NewVision
SSAABABALIRIZI w’ebitabo bya gavumenti, Edward Akol ayanjulidde sipiika wa palamenti alipoota ku nsimbi ezenkomeredde gavumenti z’eteekeddwa okuliyirira kapuni ya UMEME obuwumbi 432 n’obukadde 600.
Kinajjukirwa nti mu kusooka gavumenti yali esuubira ensimbi ez’okuyirira UMEME okubeera obuwumbi 700 wabula ensimbi ezikakasiddwa ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ziri wansi w’ezo ezaali zaateeberezebwa gavumenti obuwumbi 267 n’obukadde 600.
Aba Ofiisi Ya Ssaababalirizi W'ebitabo Nga Basisinkanye Sipiika Among Okumuwa Alipoota Ku Umeme.
Sipiika wa palamenti Anita Among bw’abadde akwasibwa alipoota eno akikkaatirizza nti gavumenti erina okusasula obuwumbi 432 n’obukadde 600 obukakasiddwa so si obuwumbi 700 obwali bwayisibwa palamenti wiiki ewedde.
Sipiika Among ategeezezza nti ensimbi ezaayisibwa wiiki ewedde zaliiko akakwakulizo nti zirina kusasulwa oluvannyuma lwa alipoota ya ssaababalirizi era nga ze zirina okusasulwa.
Wiiki ewedde, Palamenti yakkiriza okusaba kwa gavumenti okwewola obuwumbi 700 okuva mu bbanka ya Stanbic okuliyirira UMEME wabula palamenti ensimbi zino yazissaako akakwakulizo nti zirina kusooka kukakasibwa ssaababalirizi.
Sipiika era yeebazizza ekitongole kya ERA ne UEDCL olw’okuwa ssaababalirizi ebiwandiiko byonna bye beetaaga okukola omulimu guno n’asaba gavumenti okulaba nga Bannayuganda bafuna obuwereeza obulunji.
No Comment