Bobi Wine ayatulidde Mpuuga ne Bwanika ku bya Eddie Mutwe
May 07, 2025
AKULIRA NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu avuddemu omwasi ku nsonga z’omukuumi we Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe eyakwatibwagye buvuddeko mu bitundu by’e Mukono.

NewVision Reporter
@NewVision
AKULIRA NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu avuddemu omwasi ku nsonga z’omukuumi we Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe eyakwatibwa
gye buvuddeko mu bitundu by’e Mukono.
Kyagulanyi yategeezezza nti akimanyi nti eyali akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti era eyali amumyuka mu Buganda, Mathias Mpuuga Nsamba wamu n’omubaka wa Kimaanya Kabonero Dr. Abed Bwanika nti be bali emabega w’okusibwa kw’abakuumi be okuli; Achilleo Kivumbi, Ghadafi Mugumya, Smart Wakabi nga kati ku fayiro y’emu bagasseeko Eddie Mutwe.
Yagambye nti Mpuuga yakola kinene okuperereza bannamawulire abagasakira mu bitundu by’e Masaka batwale omusango mu kkooti nga balumiriza abakuumi be okubakuba n’okubabbako ebyabwe bwe baali ku kyalo Manja mu disitulikiti y’e Lwengo mu kuziika omugenzi Pasikaali Ssekasamba, ekintu ekitali kituufu.
Kyagulanyi yatuuse n’okusitula omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n’amusaba abeeko by’atangaaza ku baani abaali emabega w’okusibwa kwabwe n’omugenzi Muhammad Ssegirinya.
Ssewannyana olwakutte akazindaalo yayogedde kaati nti kituufu Mpuuga yali wakati mu
lukwe n’okubabeeza mu kkomera n’ebigendererwa ebitannamanyika.
Baabadde ku kitebe ky’ekibiina e Makerere Kavule eggulo bwe yabadde ku mukolo
gw’okulangirira abagenda okukulira eby’okulonda mu kibiina.
Akakiiko kagenda kukulirwa Harriet Chemitai amyukibwe Ivan Ssempijja. Abalala abaalondeddwa kuliko; Alex Rovans Lwanyaga agenda okuba omuwi w’amagezi mu byekikugu, Jonahmary Ssebuufu avunaanyizibwa ku Buganda ,Fred Edega Achoka wa Buvanjuba .
Abalala kuliko Patrick Lowumu wa mambuka, Julian Kabagambe wa Bugwanjuba, Sultana Salim wamawulire, Jonathan Elotu wa byamateeka ne Eddie Kayabula agenda
okuba omuwandiisi. Kyagulanyi yalabudde abalondeddwa okubeera abeegendereza
obutabaawo ababuzaabuza okubasuula mu butego bw’okulya enguzi kubanga kigenda kubalabisa bubi ng’ekibiina .
No Comment