Abakozi ba vision group bakubiriziddwa okubeera abamazima

May 07, 2025

ABAKOZI bakubiriziddwa okubeera ab'amazima,abesigwa era abagumikiriza nga bafunye ebibasoomoza ku mirimu.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAKOZI bakubiriziddwa okubeera ab'amazima,abesigwa era abagumikiriza nga bafunye ebibasoomoza ku mirimu.
 
Bino byogeddwa Rev.Fr.Joseph Balikuddembe ow’ekigo kye Kamwokya bweyabadde akulembeddemu mmisa y’Abakozi ba Vision Group eya buli mwezi mwe bakuliza olunaku lw’omuwoolereza waabwe Yozefu omutukirivu.
 
Fr.Balikuddembe ategeezezza nti abakozi bangi bakolera mu kusomoozebwa okutali kumu wabula nabasaba bulijjo okujjukira okwekwasa Yezu Kristu ne maama Maria babayambe okuyita mu mbeera ey’okusomoozebwa mukifo ky’okudduka ku mirimu.
 
Agambye nti bulijjo Katonda awa omukisa emirimu gy’emikono gyaffe nga y’ensonga lwaki nebwetufuna ebitusoomoza tusanidde okulemerako olwo Katonda alyoke atumwe omukisa.
 
Asabye abakozi bonna okwekwasa ennyo Maama Maria mu mwezi gwe guno n’okumusaba abasabire eri omwana we Yezu awe omukisa emirimu gy’emikono gyabwe.
 
Ssabakristu wa Uganda era omumyuka w’omukunganya wa kkampuni ya Vision Group Gervase Ndyanabo asabye abakristu okukowoola mwoyo mutukirivu alungamye Bakalidinaali mu kulonda Paapa n’okusabira Paapa anaba alondeddwa okusobola okutwala mu maaso omulimu gw’okulembera Eklezia munsi yonna.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});