Bannayuganda beesunga lukungaana lwa Africa e Canada
May 07, 2025
Ebijaguzo bya Africa Day byengedde era Bannayuganda abenjawulo okwetooloola ensi yonna bali mu keetalo.

NewVision Reporter
@NewVision
Ebijaguzo bya Africa Day byengedde era Bannayuganda abenjawulo okwetooloola ensi yonna bali mu keetalo.
Ebijaguzo okuli n’okulungaana bigenda kubeera mu Canada mu kibuga Otawa nga May 31 wansi w’omulamwa; "Voices of the African Diaspora: Shaping the Africa We Want". Bitegekeddwa ekibiina kya Stand out Africa ekikulirwa Munnayuganda Evalyne Aijuka ng’ali wamu ne Institute of African Studies esangibwa ku Carleton University mu Canada. Olukungaana lugenda kwetabwako ba ambasada ab’enjawulo, abasuubuzi abakukunavu, abakungu ba gavumenti, bakakensa mu bya ttekinologiya n’abakulembeze okuva mu bitundu ebyenjawulo.
Aijuka ne ambasada Kajik
Bano nno bagenda kukubaganya ebirowoozo ku kwegatta kwa Africa n’enkulaakulana ku mulamwa gwa Africa’s Agenda 2063.
Aijuka agamba; “Nga Stand out Africa, tusobodde okukolagana ne bayinvesita abenjawulo abatadde ssente mu bya ttekinologiya mu Uganda. Enkolagana eno ewadde abavubuka bangi emirimu n’okutumbula obuyiiya.”
Agamba nti ebijaguzo bino bigenda kwongera okuggumiza emisingi egigenda okuyamba bannayuganda okwolesa ebitone n’okuganyulwa mu by’obusuubuzi.
Gyebuvuddeko, Canada yatongoza kaweefube w’okukolagana n’amawanga ga Africa mu by’obusuubuzi n’ebyokwerinda. Aijuka agamba nti Uganda erina okuganyulwa mu kaweefube ono
“Tugenda kusikiriza Canada okusiga ensimbi mu Uganda era tugenda kubalaga ebirungi bye tulina mu byobulimi, ebyobulambuzi, ebyenjigiriza ebya ssayansi n’ ebyobulamu,” bw’agamba.
“Nkoowoola bannayuganda mwenna okweyiwa mu lukungaana lwaffe era mbakakasa nti mugenda kuganyulwamu nnyo.”
Yunivaasite za Uganda n’abayizi bassekinnoomu nabo baakuganyulwa mu nkolagana ne yunivaasite z’e Canada naddala Carleton University.
Prosper Higiro Ambasada wa Rwanda naye ajja kubaawo nnyo e Canada
Allan Kajik, ambasada wa Uganda mu Canada yeebazizza Aijuka ne team ye okutegeka olukungaana luno n’agamba nti lugenda kuyamba okutunda Uganda mu nsi yonna n’okutumbula enkulaakulana. Yeesunga okulwetabamu.
Ronald Katamba akulira Jaguza Tech, Uganda naye yeesunze okukubaganya ebirowoozo n’okulaga engeri Uganda gy’egenze ewala ennyo mu bya ttekinologiya n’enkulaakulana.
Beatrice K. Mushanga; “Nnakamala emyaka 25 mu Canada naye sirabangako Munnayuganda yeewaayo nnyo ku nkulaakulana ya Africa nga Aijuka. Tukwebaza nnyo.”
No Comment