Bakubiriziddwa okwettanira Insurance za Microfinance

May 07, 2025

Dayirekita avunaanyizibwa ku kulambika empeereza mu kibiina kya Insurance Regulatory Authority (IRA) Benard Obel alagidde aba Mirai General Insurance okutandikawo amangu empeereza eri ba mufunampola mu nkola ya ‘Microfinance’

NewVision Reporter
@NewVision

Dayirekita avunaanyizibwa ku kulambika empeereza mu kibiina kya Insurance Regulatory Authority (IRA) Benard Obel alagidde aba Mirai General Insurance okutandikawo amangu empeereza eri ba mufunampola mu nkola ya ‘Microfinance’.

Egou abadde atongoza yinsuwa eno bw’ebadde erangirira nga bwe yeeyubudde okuva mu First Insurance Company Limited (FICO) okufuuka Mirai General Insurance ku mukolo ogubadde ku woteeri ya Sheraton Four Way e Kololo.

Abadde akiikiridde akulira emirimu mu kitongole kya IRA, Lubega Kaddunabbi n’ategeeza nti eyatandikira mu Uganda esaanye okussa essira ku famile n’omuntu wa bulijjo abafuna obubenje buli kiseera naye nga batya okwettanira enkola ya yinsuwa nga balowooza nti za kkampuni nnene na bagagga.

“Njagala mutandike okutaasa famile n’omuntu wa bulijjo. Mwategeeza nti mulina abakugu okuva mu Buyindi buli kkampuni ya yinsuwa eteekeddwa okubeeramu n’empeereza ya Microfinance’ eri omuntuwa bulijjo naye muluddewo okuteeka kino mu nkola mu Uganda,” Obel bwe yalambise n’agamba nti kirungi okudda obuggya.

Akubirizza n’abakulira zi yinsuwa, abazirambika n’abaziddukanya mu ggwanga okwongera okwettanira enkola y’omutimbagano mu mpeereza eno okusobola okutuuka ku bantu bangi wadde nga batono ddala abeyunira yunsuwa.

“We twogerera abantu abeeyunira yisuwa mu Uganda bali wansi wa kimu ku kikumi naye ffe tusinga okubeera waggulu mu mawanga g’obuvanjuba bwa Africa,” Egou bwe yayongeddeko.

Joseph Kibuuka nga dayirekita mu Mirai ategeezezza nti okweyubula kitegeeza kwezza buggya ea nga basangibwa Bugoloobi mu Kampala.

Akubirizza abantu n’amakkampuni okubettanira kubanga eno yinsuwa etandikidde mu Uganda mu Africa wabula nga bali wansi wa kkampuni gaggadde eya Pride Global.

“Obusobozi bwa Mirai bwongedde okugaziwa era tulina obusobozi okusasula omuntu mu lunaku lumu singa abeera n’ebisaanyizo,” bwe yalambise n’agamba nti ekigambo Mirai kya Lujapaani ekitegeeza ebiseera ebyomu maaso.

Ye akulira emirimu mu Mirai, Jeff Thompson agumizza abantu nti baakwaniriza n'okuyigiriza abantu nti yinsuwa kitegeeza kwetegekera bya mumaaso

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});