guudo mu Wakiso zitandise okukolebwa
May 06, 2025
DISITULIKITI ye Wakiso ekwasizza bakontulakita enguudo bbiri zebatandikiddewo okukola kwezo eziri munteekateeka y’okukolebwa ssaako okuyibwa kkolaasi wansi w’enteekateeka ya Greater Kampala Metropolitan Area

NewVision Reporter
@NewVision
DISITULIKITI ye Wakiso ekwasizza bakontulakita enguudo bbiri zebatandikiddewo okukola kwezo eziri munteekateeka y’okukolebwa ssaako okuyibwa kkolaasi wansi w’enteekateeka ya Greater Kampala Metropolitan Area.
Enguudo zino kuliko Bukasa- Sentema- Kakiri oluwezaako 12.17km nga lwatereddwako obuwumbi 56, ssaako nolwa Kisozi-Kitemu- Naggalabi oluwezaako 6.5km olwaatereddwako obuwumbi 35.
Minisita omubeezi owa Kampala n’emiriraano Kabuye Kyofatogabye yeyakwasizza kkampuni z’abachina bbiri enguudo okuli eya China International construction company neya China Railway Seventh Group, nga zino yaziwadde omwaka gumu n’ekitundu okuba nga zimalirizza omulimu.
Kyofatogabye yagambye nti enguuzo zino sizezokka ezigenda okukolebwa mu Wakiso, nti kyokka baazilondayo mukusooka olw’okuba zigatte enguudo nnyingi okuli olwa Masaka, Mityana, Hoima ne Ntebe nga kino kyakundeeza ku kalippagano k’ebidduka mubitundu bya Kampala.

Ezimu kunguudo ezigenda okkolebwa mu Wakiso
“Munteekateeka y’okukola enguudo mu Wakiso, twawebwa obuwumbi 400 nga zakuyambako okuyiwa kkolaasi enguudo ezimu era tutunulidde enguudo okuli olwa Nansana-Wamala-Katooke, Mende-Senge-Kawanda, ssaako endala.” Kyofatogabye bweyayongeddeko.
Yalabudde bakontulakita okutambulira kwebyo bye baateeka mundagaano ate bakole omulimu nga tebataddemu mbeera ya ssemugayaavu kuba Gavumenti ssente zonna ezikola omulimu yazitaddewo.
Ye RDC wa Wakiso Justine Mbabazi yalagidde bakontulakita bano okufa nekubaana b’ebitundu enguudo gyezigenda okukolebwa nga babawa emirimu egisoboka, era nagamba nti ekintu kino agenda kukigoberera nnyo.
Kyokka Mbabazi yalabudde bano, nti singa babeera bawereddwa emirimu nebetaba mu kubba ebintu ebikozesebwa, bagenda kusibwa ate teri mukulembeze n’omu ajja kubataasa kubajja mumakomera.
Yebazizza nnyo pulezidenti Museveni olw’okufa ku disitulikiti ye Wakiso kuba yemu ku disitulikiti ezisingamu enguudo embi, nga kino ekikoleddwa kiraga nti nnyingi zakutereera olwo n’ebyentambula bigonde.

Okutongoza okkola enguudo
CAO wa Wakiso Alfred Malinga yalabudde bakontulakita obutagezaako kukola gadibe ngalye, olw’okuba Gavumenti yabawadde ssente, nti kyokka bakole enguudo ezinaawangaala ennyo ate nga ziri ku mutindo.
Yategezezza nti pulojekiti yali yakutandika emyezi ebiri emabega kyokka nti wabaddewo okusooba mu ofiisi ezimu, nasaba bakontulakita okufuba okukolera mu budde obwo obuliwo kyokka nga bakola n’obumanyirivu.
Yinginiya wa disitulikiti ya Wakiso, Geoffrey Ndiwalana yategezezza nti enguudo zino zakukolebwa nga ngazi bulungi, okutekebwako amataala amalungi, obupande obulagirira abagoba b’ebidduka, ekifo ab’ebigere webayita, n’ekifo abantu webasalira.
Related Articles
No Comment