Poliisi eyodde 30 ku by’okutigomya ab’e Katanga mu Wandegeya
May 06, 2025
POLIISI e Wandegeya ekoze ekikwekweto mu Katanga mwekwatidde abateeberezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka 30 n’ebaggalira.

NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI e Wandegeya ekoze ekikwekweto mu Katanga mwekwatidde abateeberezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka 30 n’ebaggalira.
Kino kiddiridde poliisi okukizuula ng’abamenyi b’amateeka bwe bazzeemu okukung’aanira mu kitundu kya Katanga n’ebigendererwa eby’okuddamu okutigomya abantu nga babanyagulula.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti poliisi y’e Wandegeya yafunye amawulire nga waliwo abamenyi b’ameteeka abali mu kabinja akamanyiddwa nga Kiggaali abeenyigira mu kuteega abantu ne babanyagulula, okumenya amayumba ababadde bazzeemu okukung’aanira mu kitundu kya Katanga.
“Ebikwekweto ebyakolebwa emabegako byavaako okukwata abamenyi b’mateeka abawera ne batwalibwa mu makomera ag’enjawulo era obubinja mwebaali ne busaanawo wabula olwayimbuddwa bazzeemu okukwatagana baddemu okwagala okubba wabula poliisi yabanguyidde n’ekola ekikwekweto n’ekwata abamu kubo,” Owoyesigyire bwe yategeezezza.
Yagambye nti ku Lwomukaaga abaserikale ku poliisi y’e Wandegeya basitukiddemu oluvannnyuma lw’okutemezebwako nga bwe waliwo abamenyi b’amateeka abazzeemu okukung’aanira mu Katanga nebakwatayo 30 ne baggalirwa.
Abamu ku baayooleddwa kuliko; Yosia Kigozi, Musa Mugara, Didas Asiimwe, Chrispus Rugaba, Bernard Muyomba, Rogers Bukenya, Christopher Tumwesigye, Adam Tumukunde, Lauben Nkuruziza, Brian Ndaizeya n’abalala.
No Comment