Gavumenti etandise kaweefube w'okugabira abaana obuugi obulimu ekiriisa
May 07, 2025
GAVUMENTI ng'eri wamu ne UNICEF bataddewo enkola ey'okugaba obuugi obulimu ekiriisa eri abaana 25000 mu maka ag'enjawulo n'ekigendererwa kyokutaasa endya embi eviirako abaana okukonziba

NewVision Reporter
@NewVision
Bya John Musenze
GAVUMENTI ng'eri wamu ne UNICEF bataddewo enkola ey'okugaba obuugi obulimu ekiriisa eri abaana 25000 mu maka ag'enjawulo n'ekigendererwa kyokutaasa endya embi eviirako abaana okukonziba
Okusinziira ku Laura Ahumuza, omukugu mu byendiisa mu minisitule y’ebyobulamu ategeezezza nti kaweefube ono wa kumala emyezi mukaaga era nga agendereddwaamu okuganyulwa amaka agalina abaana abali mu myezi mukaaga, omwaka wamu n'emyaka ebiri.
“Tusaba abazadde bawe abaana saketi emu buli lunaku; kino kibanga omwana alidde eggi limu olunaku.
Tetugenda kugaba buugi buno mulundi gumu, tujja kuddanga tubawe era nga famile za kufunanga saketi z'obuugi buno mu buli bbanga eggere.” Ahumuza bweyategeezezza bannamawulire.
Minisitule yebyobulamu egamba kawefube ono yatandise dda mu Kawempe divizoni era nga balina enteekateeka okugabira disitulikiti endala omuli kyenjojo, Kyegegwa, Kasese n'ebitundu ebirala awali endya embi mu baana abawere.
Ahumuza yategeezezza nga kawefube, ono bwagenda okwesigama ennyo ku bajjanjabi bwo ku byalo lwa nsonga bano bamanyi buli maka, omuli abaana abawere era n'akakasa nti bano bebagenda okugaba obuugi buno.
Ono yasabye ne Bannayuganda okulunda enkoko ezimala okulaba nga abakola obuwunga buno basobola okufuna ebibayamba okukola obuwunga buno.
“Tulubirirwa okulaba nga buli maka gafuna obuugi buno, bulimu amaggi n'amata era nga buli mwana yenna yandisaanye okubunywa. Mu kiseera ekigere, tujja kutekaawo enkola eyamba abaagaala okubula eri abo abesobola," Namukose bweyategezeeza.
No Comment