Omuliro gusanyizaawo emmaali y'omugagga we Busega
May 07, 2025
EMMAALI y’omugagga we Busega John Bosco Muzirango ebalirwamu akawumbi n’okusoba etokomokedde mu na bbambula w’omuliro akutte ssemadduka we owa Smart min.

NewVision Reporter
@NewVision
EMMAALI y’omugagga we Busega John Bosco Muzirango ebalirwamu akawumbi n’okusoba etokomokedde mu na bbambula w’omuliro akutte ssemadduka we owa Smart min.
Ssemadduuka ono asangibwa Busega okuliraana essundiro lya mafuta erya Shell ng’omuliro gwatandise ku ssaawa 1:00 eyakawungezi kw’olwokubiri nga kyatwalidde poliisi y’abazinya moto n’abaddukirize essaawa ezisoba mu 10 okuguzikirizza.
Adrian Ssegirinya mutabani wa Muzirango omu ku babaddewo ng’omuliro guno gutandika yanyonnyodde nti omuliro guno gwatandikidde ku mwaliro ogwa wansi ne gwambuka waggulu kyokka gw’abadde mungi nnyo nga ky’abadde kizibu okubako ebintu bye batakkiriza.

Ebintu ebijjiiridde mu muliro
Yagambye nti ssaawa nga ziyingira 3:00 ez’ekiro emmotoka ezizikiriza omuliro zatandise okutuka nga twagezezaako okukuba ebituli mu bisenge okusobola okuzikiriza omuliro ogw’abadde gumaze okusasanira ekizimbe kyonna.
‘’Tubadde twakatikula emmaali yamassomero kubanga bebamu ku bakasitoma baffe abasinga okutuwagira ng’eno yonna yatokomose’’Ssegirinya bwe yategeezezza
Ng’oggyeko ebintu twafiiriddwa n’essente enkalu ezitanamanyika muwendo n’ebiwandiiko eby’omugaso kyokka twebaza Katonda nti tewali yalumiziddwa oba okufiirwa obulamu mu muliro guno.
Ye omugagga Muzirango yabadde mu ku boyana ng’abulako katono okwesula mu muliro ng’alaba emmaali yonna egwawo.
Ekifo kino kibaddeko ekifo awatundirwa ccaayi (Coffee point) nawatundirwa eby’okuzanyisa bya baana (Toy centre) nga bino byokka byolabako mu kiseera kino ebyasobodde okutakirizibwa.
Mu maaso ga ssemadduuka ono omugagga abadde atundirawo emmotoka empya kyokka abaddukirize basobodde okuzijjawo netakwata muliro.
Omuliro guno gugambibwa okuba nga gwavudde ku masannyalaze nga kigambibwa nti wansi wabaddeyo omusajja eyabadde aliko ebyuma byayokya ng’obuliro obwasamuse bwe bwavuddeko ekabenje.

Emmaali ng'wkutte omuliro
Ekifo kino kyetoloddwa amadduuka agatunda ebintu eby’enjawulo okuli ebizimbisibwa,engoye namayumba agasulwamu kyokka bagwanguyidde obutasasaana.
Sgt.Erias Wakalya okuva mu kitongole kya poliisi ekizikiriza omuliro yawadde bannanyini bizimbe amagezi okuyambisa ekitongole kyabwe bulijjo basobole okubawabula kungeri y’okwetangiramu obubenje bw’omuliro.
Agambye nti obuzibu bwe bafunye kwekubeera ng’ekifo webajja amazzi kyabadde wala nawabadde omuliro ate ng’obudde bwabadde bwa jjaamu.
Abakulembeze okwabadde Loodi mmeeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago,omubaka w’ekitundu Aloysiou Mukasa ne mmeeya wa Lubaga munisipaali Zacchy Mberaze batuuseko mu kifo kino ne basasasira abakoseddwa era ne basaba poliisi okuteeka ebimmotoka ebizikiriza omuliro mu ku buli poliisi okusobola okutaasa emmaali y’abantu.
Related Articles
No Comment