Ebibuuzo ku kabenje akasse Rajiv

May 06, 2025

GAVUMENTI evuddeyo ku kabenje akasse mutabani wa nagagga Dr. Sudhir Ruparelia, minisita w’ebyenguudo, Gen. Katumba Wamala n’alangirira nti ataddewo akakiiko akabuuliriza ku kyavuddeko obuzibu

NewVision Reporter
@NewVision

GAVUMENTI evuddeyo ku kabenje akasse mutabani wa nagagga Dr. Sudhir Ruparelia, minisita w’ebyenguudo, Gen. Katumba Wamala n’alangirira nti ataddewo akakiiko akabuuliriza ku kyavuddeko obuzibu..
Rajiv Ruparelia 35, yafiiridde mu kabenje mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga mu ngeri eyalese abooluganda n’emikwano mu kiyongobero n'entiisa olw'engeri mmotoka gye yatulise n'ekwata omuliro.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa ffamire kyategeezezza nti omulambo gwa Rajiv gujja kwokebwa leero ku Lwokubiri ku ssaawa 8:30 ez’olweggulo mu limbo ya
Bahindu e Lugogo.
Abantu ab’enjawulo n’okutuusa eggulo baabadde bakyesomba okugenda mu maka
ga Dr. Sudir e Kololo okumusaasira n’okumugumya. Sipiika wa Palamenti, Anita Among ne Gen. Henry Tumukunde be bamu ku baagenz ewa Sudhir ne basaba Katonda agumye famire mu kaseera kano akazibu. Minisita w’Ebyetambula 'emirimu, Gen. Edward Katumba Wamala etaddewo akakiiko noonyereza ku kyavuddeko
akabenje omwafiiridde Rajiv.
Mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kitebe kya minisitule mu Kampala,
Katumba yasaasidde ffamire ya Sudhir olw'okufiirwa omwana.
Yagambye nti Gavumenti etaddewo akakiiko kanoonyereze era bazuule kyavuddeko akabenje.
Yagambye nti lipooti ekwata ku bumenyi bw’amateeka eya 2024 eraga nti obubenje 25,107 bwe bwagwa ku nguudo nga mwafiiramu abantu 5,154. Obuzibu obuliwo minisitule terina ssente zitereeza nguudo nga kibetaagisa obuwumbi 1300 (1.3 trillion) nsonga eyaviirako ne kkampuni ezimu okuyimiriza emirimu. Yawadde ekyokulabirako kya kkampuni ekola ekitundu awaafiiridde Rajiv nti abanja ssente obuwumbi 43 era  badde yayimiriza dda okukola emirimu. Ku kwemulugunya kw’abantu nti ebiseminti bino byaggyibwawo ate ne bimala ne bizzibwawo, Katumba yagambye nti byaggyibwawo mu biseeraby’olukung’aana lw'abakulembeze ba mawanga olwa NAM era bwe lwaggwa ne babizzaawo.
Ku nsonga y’abatuuze ey’okugamba nti minisita ekifo yakivaako, yagambye nti yagenda mu kifo kino n’ababaka ba Palamenti abatuuze bennyini ne babasaba bajira babaddizaawo enkulungo ekintu kye baakola. Kyokka olumu
n’abeebidduka bisukka okudduka wadde nga kuliko obubonero obubalaga we batalina   sukka.
Kamisona wa minisitule, Isaac Wani yagambye nti emitendera omuyitibwa okukola oluguudo miwanvu n’asaba abantu bakomye okulowooza nti oluguudo olusimiddwa baba baluvuddeko.
“Kkampuni esooka kusenda, okupima ettaka, okupima malamu we bagenda okukozesa n’ekifo kyonna ne kikeberwa. Kyokka abamu bwe basanga oluguudo nga lusimiddwa ate bayomba nga tebasoose kumanya mitendera giyitibwamu,” Wani bwe yagambye. Ku nguudo ezikolebwa mu Kampala n’ebitundu ebyetoolodde,
Katumba yategeezezza nti zaawuka kinene ku za minisitule kuba zino nsasulire era omulimu gugenda mu maaso. Katumba yategeezezza nti enguudo zonna embi bazimanyi
era ezimu bazikolako ng'olwa Kigombya ku Jinja Road, Gayaza- Kalagi, Katosi Road n’endala era balondoola n’entindo ezikaddiye. Mu kiseera kino yasabye abantu
babeere bagumiikiriza balinde lipooti ya minisitule ne poliisi ekwata ku kyavuddeko akabenje.
Ebipya ebizuuse ku kabenje: Akabenje akasse Rajiv, kaaguddewo kiro ekyakeesa Olwomukaaga ku ssaawa 7:54 ez’omu ttumbi bwe yabadde ku ttaawo lye Busaabala ng’ava e Kajjansi avuga adda Munyonyo.
Omugenzi yali atambulira mu mmotoka ekika kya Nissan GTR nnamba UAT 638L eyatomedde emiziziko gy’ebiseminti ebyabadde biteereddwawo abakola ekkubo mu nkulungo eri ku ttaawo.
Mu ngeri eyeewuunyisa, emmotoka bwe yakoonye ebiseminti yabuuse mu bbanga n’etomera kkamera z’oku nguudo n’ebwatuka omulundi gumu n’etuntumuka omuliro yonna.
Emmotoka eno eyogerwako ng’emu ku zisinga okudduka mu nsi yonna era esobola okumansuka n’etuuka ku mayiro 200 (320km) buli ssaawa. Ekozesa mafuta ga Av
Gas (Aviation Gasoline) nga gano mafuta ga nnyonyi.
Rajiv ye mwana omulenzi yekka owa Sudhir ne mukyala we Jyotsna Ruparelia era nga yalese omwana omu Inara Ruparelia

EBIBUUZ O EBIKY EBUUZIB WA KU KABENJE 

Enfa ya Rajiv yakubye wala Bannayuganda era yabalekedde ebibuuzo
ebiwerako bye bakyebuuza ku kabenje kano.
1. Lwaki abakola oluguudo luno baalemwa okuteekawo obubonero obulabula ebidduka ng’oluguudo bwe luggaddwa olw’okuddaabirizibwa.
2. Abakulembeze mu kitundu bagamba bazze bawandiika amabaluwa ageemulugunya ku mbeera y’okussa ebiseminti bye baggyamu nga bwe babizzaamu. Naye lwaki tewali yafaayo wadde okubaddamu?
3. Kyavudde ku ki mmotoka enzito ey’ekika kino okutomera ekiseminti n’etumbiira mu bbanga n’etuuka n’okukoona kkamera eziri ku luguudo waggulu.
4. Rajiv amanyiddwa nti alina ddereeva, kyewuunyisa okuba ng’olunaku lwe yafunye akabenje mu mmotoka yabaddemu yekka.
5. Oluguudo okwagudde akabenje ku ttaawo ly'e Busaabala lumaze ebbanga nga lukolebwa. Lwaki teruggwa? 6. Abatuuze abali mu kitundu ewaagudde akabenje bagamba nti ekifo kino mu myezi ebiri egiyise waakafiirawo abantu 8. Tuyinza okugamba nti abavunaanyizibwa ku luguudo kibadde tekibamala okubaako
bye batereeza.
7. Okusinziira ku byannyonnyoddwa munnamawulire Andrew Mwenda,
maama w’omugenzi yaweerezza ddereeva wa Rajiv, obubaka ku ssimu

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});