Omulamuzi yasisinkanye enjuyi zombi ku kizimbe
May 09, 2025
Bino okubaawo ng’Omulamuzi wa Kkooti Enkulu ekola ku by’ettaka, Samuel Kagoda Ntende alagaanyizza ku Lwokuna okutuuza kkooti ku mmaali ekaayanirwa.

NewVision Reporter
@NewVision
Bino okubaawo ng’Omulamuzi wa Kkooti Enkulu ekola ku by’ettaka, Samuel Kagoda Ntende alagaanyizza ku Lwokuna okutuuza kkooti ku mmaali ekaayanirwa.
Ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo, Omulamuzi Kagoda yatuuse ku ttaka lino eriri Block 273 poloti 46 ne poloti 44 n’asisinkana enjuyi zombi okumunnyonnyola ebikwata ku ttaka n’okumanya embeera eriwo.
Ffamire ya BMK yakulembeddwa omusika Ali Kibirige, munnamateeka wa ffamire George Muhangi, taata waabwe Haruna Kalule Kibirige n’abaana ba BMK abalala ate oludda lw’omugagga Dan Meshack Okware lwakiikiriddwa munnamateeka Francis
Kabali Ssebbowa.
Omulamuzi yalambuziddwa ettaka lyonna era enjuyi zombi ne zinnyonnyola ebiri ku ttaka, embeera eriwo era byonna ne biteekebwa mu buwandiike mu musango ogwateekebwayo Ali Kibirige ng’awaabira Okware.
Omulamuzi yagambye nti teyagenze ku ttaka kusala musango wabula okuteeka obukakafu bwe yafunye mu buwandiike ku musango ogwateekebwayo kimuyambeko mu nsala gy’anaawa nga May 16, 2025.
Muhangi yagambye nti, kkooti ekoze bulungi okulambula buli kimu ekiri ku poloti 44 ne 46 ekigenda okubayamba mu kusala omusango gwabwe gwe baateekayo, n’agamba nti okusinziira ku bipimo ebyakolebwa, buli kimu kyeyogerera nga buli poloti eyisiza waayo kw’oteeka n’ebiriko
No Comment