BMK: Abakaayanira ekizimbe babakutte ne bbomu enkolerere

May 09, 2025

ABEEBYOKWERINDA nga bakulembeddwa amagye ga miritale bakutte abavubuka munaana ababadde bagumbye ku bizimbe bya BMK ebikaayanirwa aba ffamire n’abaana b’omugagga Kirumira.

NewVision Reporter
@NewVision

ABEEBYOKWERINDA nga bakulembeddwa amagye ga miritale bakutte abavubuka munaana ababadde bagumbye ku bizimbe bya BMK ebikaayanirwa aba ffamire n’abaana b’omugagga Kirumira.
Abaakwatiddwa baasangiddwa n’ebintu ebikola bbomu enkolerere, okwabadde amafuta ga peetulooli, obuganga, amacupa g’omwenge n’ebibiriiti.
Bino byabaddewo ku Lwokuna ku makya era abakwatiddwa baatwaliddwa ku poliisi ne baggulwako emisango.
Abakozi mu bizimbe bya BMK ebisangibwa e Buziga ku Mulamula Road baategeezezza nti abavubuka abawera 100 baaleeteddwa ku Lwokusatu ekiro ne bateekebwa ku poloti 46 ne batandika okukuba n’okugoba buli eyabadde asemberera ettaka erikaayanirwa.
Kuno baagasseeko okukasuka bbomu enkolerere ku bizimbe bya BMK ebiri ku poloti 44. Abakozi ba ffamire ya BMK beekubiddeenduulu mu boobuyinza era enkeera aba miritale ne bajja okutaasa embeera. Bwe baatuuse baasazeeko ekifo ne batandika okufuuza wonna kwe kugwa ku bbomu enkolerere abavubuka ze baabadde nazo, ssaako ebyeyambisibwa mu kuzikola.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});