Ab’omu Kikuubo beekengedde ennoongoosereza ku EFRIS
May 07, 2025
AB’OMU Kikuubo beekengedde obuwaayiro obuli mu nnongoosereza z’ebyemisolo ezaatwaliddwa mu Palamenti.

NewVision Reporter
@NewVision
AB’OMU Kikuubo beekengedde obuwaayiro obuli mu nnongoosereza z’ebyemisolo ezaatwaliddwa mu Palamenti.
Nga 27 March, 2025, omumyuka wa Minisita w’ebyensimbi, Henry
Musaasizi yatwala ennongoosereza mu Palamenti okukubaganyizibwako ebirowoozo. Era nga singa zinaayisibwa, Pulezidenti Museveni n’azissaako omukono olwo gafuuka
amateeka aganaatandika okweyambisibwa ekitongole ekiwooza omusolo okutandika
nga 1 July, 2025.
Mu bumu ku buwaayiro obuli mu nnoongoosereza zino bwe beekengedde mulimu;
obukubisaamu engassi abasuubuzi abanaazuulwa nga tebeeyambisizza nkola ya
‘Electronic Fiscal Receiptig and Invoicing Solution-EFRIS’ emirundi ebiri okwawukanako n’enkola ebadddewo.
Mu nkola ebaddewo, omusuubuzi abadde asasula engassi ya bukadde 8. Ate asangibwa nga tawadde bakasitoma lisiiti ku bintu by’abeera abaguzizza, abadde asasula obukadde 6.
Omuwandiisi wa KEI, Eric Serugo, yalaze nti mu nnongoosereza ezaatwaliddwa mu Palamenti, yenna anaakwatibwa nga teyeeyambisizza nkola eno, wa kusasula engassi ya bukadde 16. Ate anaasangibwa nga tawadde bakasitoma lisiiti waakusasula ya bukadde 12.
Bino olwagudde mu matu g’abasuubuzi abeegattira mu kibiina kya Kikuubo ‘Entrepreneurs’ Initiative-KEI’ ne bawandiikira Palamenti ebbaluwa nga bagisaba obutayisa nnongoosereza eno.
Ssentebe wa KEI, Peter Kibirango, yategeezezza nti, singa amateeka gayita kijja kutaataaganya bizinensi z’abasuubuzi n’okubawaliriza okuddamu okuggala
amaduuka gaabwe nga pulezidenti tannaddamu kubasisinkana nga bwe yabasuubiza oluvannyuma lw’ensisinkano gye baalimu naye e Kololo nga beemulugunya ku nkola ya
EFRIS.
Baawadde Palamenti amagezi okugira ng’eyimiriza okuteesa ku nnongoosereza
zino okutuusa nga pulezidenti azzeemu okusisinkana abasuubuzi ababuulire w’ayimiridde ku nsonga eno.
No Comment