Okussa ebyesuubo mu nkoko z’amagi kigoba emize n’ozifunamu ekiwera

May 07, 2025

Okussa ebyesuubo mu nkoko z’amagi kigoba emize n’ozifunamu ekiwera

NewVision Reporter
@NewVision

ENKOKO y’amagi yeetaaga okuwa embeera ennungi enkoko w’esobolera okukuwa eggi ng’ekikola mu mbeera y’obukkakkamu, eteriimu kutawaanyizibwa, awatali kwekengera olwo n’ekuwa eggi.
Ssaalongo Robert Sserwanga, omukugu mu kulunda enkoko owa Agrarian Systems e Wakaliga era minisita wa Kabaka ow’emizannyo n’abavubuka annyonnyola nti, wadde
abamu bayinza okulowooza nti, ebyesuubo gabeera masappe mu nnyumba y’enkoko, birina emigaso mingi ddala mu nkoko z’amagi.
l Ekyesuubo kibeera miti, enkoko weeyimirira n’esobola okusosola byoya obulungi, ky’ekifo enkoko eyigganyizibwa w’esobola okuddukira n’eviira eziri wansi kuba yeetaaga obuddukiro kuba ennyumba ebeera nzigale.
l Emiti gino giyamba enkoko okuwummulirako oba okwebaka era z’otowadde miti gino, zigenda kutandika okwekuma mu nsonda nga zeekolamu ebibinja eby’enjawulo.
Buli nkoko lwe zeekolamu ebibinja, zifuna azikulembera mu nnyumba era buli kabinja k’olaba singa obeera ogenzeemu ekiro kabeera n’akakulembera ng’ono y’azizuukusa,
e’’’ y’azitegeeza nga waliwo omuntu ajja, y’akulembera mu kulya amagi, okubojja ezitali mu kabinja ako era oyo y’akulembera okwonoona. Noolwekyo okwewala
emize mu nnyumba, weetaaga ebyesuubo enkoko okuwummula.
l Ebyesuubo biyamba enkoko obutabuukira buukira ku binyweerwamu n’ebiriirwamu era ogenda kukendeeza ku nsaasaana ku mmere eyandyonoonese ng’egenzeemu kalimbwe. Singa emu ebeera ndwadde, obulwadde bugenda mu mazzi n’emmere ne
busaasaanira endala.
l Okuva wansi okutuuka ku muti, kola ffuuti ssatu oba mmiita emu. Buli nkoko y’amagi
lw’ebuuka okwesuuba, okudduka endala n’ebirala kigaziya awayita eggi ne weewala enkoko okwatikiramu eggi, okulemeramu eggi ate n’okulwawo okubiika kuba ebeera bulijjo yeegezaamu ate buli lw’ewulira ng’ezitoye olw’eggi eyanguwa okugenda
eribiike esobole okudda ezannye ne zinnaazo.
l Ennyumba ezirimu ebyesuubo n’ebibiikiro enkoko zaamu zibiika amagi agawerako  kuba zanguwa okukola amagi olwo ggwe omulunzi n’ofunamu.
l Omuti guno gulina kubeera mwetooloovu okusobozesa enkula y’ekigere okwekwata nga kitegeeza nti, enkoko erinnye tetambulirako okuggyako okwebaka bw’ekoowa
ng’evaako endala ne yeebaka. l Wabula wadde eby’esuubo bikulu mu nkoko z’amagi, ate mu z’ennyama ebyesuubo tebyetaagisa kuba zo zeetaaga kubeera wansi ne ziwummula oluvannyuma lw’okulya olwo zisseeko ennyama ozitunde

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});