Bategese kkwaya y'abayimbi 500 e Namugongo
May 07, 2025
NG’EBULA wiiki ssatu zokka okutuuka ku lunaku lw’Abajulizi olukuzibwa buli June 3, Viika Genero wa Lugazi, Msgr. Richard Kayondo agambye nti bat-egese kkwaaya y’abayimbi 500 abagenda okuyimba ku lunaku olwo.

NewVision Reporter
@NewVision
NG’EBULA wiiki ssatu zokka okutuuka ku lunaku lw’Abajulizi olukuzibwa buli June 3, Viika Genero wa Lugazi, Msgr. Richard Kayondo agambye nti bat-egese kkwaaya y’abayimbi 500 abagenda okuyimba ku lunaku olwo.
Msgr. Kayondo yategee-zezza nti abayimbi bano baakuva mu kkwaaya ez’enjawulo mu ssaza lya Lugazi, eryalondebwa okuteekateeka olunaku lw’Abajulizi omwaka guno ku ludda lw’Abakatoliki.
Bwe yabadde mu lukiiko oluteekateeka olunaku luno, Msgr. Kayondo yategeezezza nti olunaku lwakutambulira ku mulamwa ogugamba nti, “Ayi Mukama mpa okulaba nze omulamazi wo ow’essuubi.”Yagambye nti abalamazi ab’ebigere okuva e Lugazi baakutandika okutam-bula nga May 30 batuuke e Namugongo nga June 1.
Yagambye nti, omu ku Baju-lizi ba Uganda 22, Ponsiano Ngondwe, eyattirwa e Ky-amula okumpi n’e Munyo-nyo, nzaalwa y’e Bulemu mu ssaza ly’e Lugazi.N’ategeeza nti, bategesee-wo okulamaga kw’abaana bonna ab’amasomero nga May 30.
No Comment