Bigirwa byongedde okumwonoonekera

Dec 29, 2023

ABAKULEMBEZE ba NUP mu disitulikiti y’e Kamuli nabo banaabidde Moses Bigirwa mu maaso, bwe bategeezezza nga bwe bamugobye mu kibiina, nga bamulanga obulabbayi n’okwonoona erinnya ly’ekibiina ng’anoonya okwetuusaako ebibye ng’omuntu.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

ABAKULEMBEZE ba NUP mu disitulikiti y’e Kamuli nabo banaabidde Moses Bigirwa mu maaso, bwe bategeezezza nga bwe bamugobye mu kibiina, nga bamulanga obulabbayi n’okwonoona erinnya ly’ekibiina ng’anoonya okwetuusaako ebibye ng’omuntu.

Mu lukiiko lwe baatuuzizza ku Tigs Hotel mu kibuga Kamuli, ssentebe wa NUP Faizo Kibengo yagambye nti Bigirwa bamulinako obuyinza kuba be baamuwa kkaadi kwe yavuganyiza ku ky’omubaka era kwe baasinzidde okumugoba. Baategeezezza nti bwe wabaawoemikolo kagibe gya ssanyu oba nnaku, Bigirwa tebamuwanga kazindaalo kwogerera NUP.

“Bigirwa takyali mmemba waffe. Nnangirira Busoga yonna nti abakolagana naye mukikole ku lwammwe, ffe eno twamugobye,” Kibengo bwe yagambye. Kibengo yanogaanyizza nti Bigirwa akukuta n’abanene mu NRM, nga ky’ayagala kwe kwefunira akasente ng’omuntu, nga yeekwese mu kibiina. Kw’ekyo baagasseeko nti Bigirwa yayisa olugaayu mu Kyabazinga wa Busoga, William Gabula Nadiope 1V, mu ddiiru ey’omukazi ow’e Bungereza eyabula katono alemese embaga ya Kyabazinga ne Inhebantu

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});