Amawulire

Ssemakookiro agenze mu Lubiri n’acamula abayingira omwaka, Ssaabasajja yalambudde Olubiri ku Lwomukaaga

OMULANGIRA Richard Ssemakookiro acamudde Obuganda bwe yayingiddewo mu Lubiri e Mmengo akawungeezi k’eggulo mu ntujjo y’Obwakabaka emalako omwaka.

Ssemakookiro ne Katikkiro Mayiga nga bawuubira abantu eggulo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Dickson Kulumba

OMULANGIRA Richard Ssemakookiro acamudde Obuganda bwe yayingiddewo mu Lubiri e Mmengo akawungeezi k’eggulo mu ntujjo y’Obwakabaka emalako omwaka.

Yatuukidde mu kiseera kye kimu ne Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nga yamusoosezza na kubuuza ku bakungu abeetabye ku mukolo guno era oluvanyuma n’amutwala ku kituuti n’awuubira ku bantu abazze mu Nkuuka 2023.

Abantu baamulaze essanyu nga bwe bamuwuubirako ng’akabonero k’okumwaniriza.

Bangi baawuliddwa nga bagamba nti era kale wadde Kabaka talabiseeko, kasita balabye ku Mulangira Ssemakookiro banaamalirako awo omwaka.

Wadde abantu baabadde bagumye, Katikkiro olwakutte akazindaalo, abantu ne baddamu okumubuuza Kabaka waabwe.

 

Mayiga yabategeezezza nti Kabaka gyali mu Lubiri era alamula Obuganda kyokka abasindikidde Nnaalinya Agnes Nabaloga okutuusa obubaka bwe obumalako omwaka ate n’okuyingiza Obuganda omwaka omuggya.

Mu bubaka bwa Kabaka, Nnaalinya Nabaloga bwe yasomye yeebazizza Obuganda olw’okubeera obumu n’obukulembeze bw’Obwakabaka mu mirimu egikoleddwa omwaka guno.

“Bbeene ayagala mubeere banywevu nga mukuuma ensonga za Buganda. Mwekuume, mubeere balamu. Ssaabasajja abaagaliza omwaka omuggya ogw’essanyu era omulungi,” Nnaalinya Nabaloga bwe yayogedde.

Nnaalinya Nabaloga nga ye Lubuga wa Kabaka Mutebi II Olwamaliriza okwogera yakwasiddwa ekisumuluzo,okuggulirawo Obuganda omwaka omuggya 2024, enduulu ne zivuga.

Ku Lwokukaaga akawungeezi ebifaananyi byasaasaanye naddala ku mikutu emigattabantu nga biraga Ssaabasajja ng’alambula Olubiri e Mmengo n’ekifo awaategekeddwa Enkuuka 2024.

Abavubuka abaabadde mu Lubiri baamwekanze era abamu baafunye omukisa okumubuuzaako n’abamu ne beekubya naye ‘selfie’.

Mu Lubiri yamazeeyo akaseera katono n’alinnya emmotoka ezaamuleese ne yeeyongerayo.

Abayimbi bangi abaasanyusizza abantu okwabadde King Saha, Pallaso, Geoffrey Lutaaya, Irene Namatovu, Lord Fred Ssebatta, Stabua Natooro n’abalala.

Tags:
Ssemakookiro
Lubiri
omwaka