BAZZUKULU ba Ssekabaka Daudi Chwa II bavuddeyo ne bategeezeza nti, tebalina kigendererwa kyonna kya kuvvoola wadde okuyisa amaaso mu Ssaabasajja Kabaka n’Obwakabaka ku nsonga ezikwatagana n’enkaayana ezinyiinyiitidde ku ttaka ly’e Kaazi.
“Tusaba tubeeko n’okusisinkana abavunaanyizibwa ku nsonga zino mu Bwakabaka tutuule twogere zigonjoolwe,” bwe baasabye.
Abazzukulu bano baakulembeddwa Omulangira Henry Kalemeera Ssemakookiro, Omulangira David Luswata Nakibinge, Nnaalinnya Gladys Nandawula, Michael Ssemakookiro n’Omusumba Michael David Ssaava Kyazze nga bano baayise olukuhhaana lw’abamawulire olwatuuziddwa ku kkanisay’Omusumba Kyazze e Namasuba.
Baategeezezza nti, ettaka ly’e Kaazi erikaayanirwa si lya Bwakabaka, wabula lya jjajjaabwe Ssekabaka Daudi Chwa II nga omuntu ne basaba aba Buganda Land Board bongere okwekenneenya ebyafaaayo n’ebiwandiiko ebizze bigobererwa. Baagambye nti, y’ensonga lwaki baagala wabeewo okusisinkana ne be kikwatako bonna basooke batuule bongere okufuna okunnyonnyolwa obutakkaanya obuliwo bugonjoolwe.
Omulangira Kalemeera Ssemakookiro yakikkaatirizza nti, Daudi Chwa yafuna ettaka lye nga omuntu lya sikweya mayiro 200 nga wa ddembe okulikozesa by’ayagala era teriri wansi wa Bwakabaka.
Omusumba Kyazze yannyonnyodde nti, ekiraamo kya jjajjaabwe Ssekabaka Daudi Chwa II kiraga bulungi nti yalaama ng’ettaka lirye era nti baliwanga bazzukulu be noolwekyo kyewuunyisa okulaba abaliremeddeko.
Nnaalinnya Nandawula yategeezezza nti e Mmengo teriiyo atakimanyi nti waliwo abaakwasibwa obuvunaanyizibwa okukuhhaanya ettaka lya Daudi Chwa era nga n’ettaka ly’e Kaazi ligwa mu kkowe lino.
Gye buvudeko minista omubeezi ow’Ebyettaka, Dr. Sam Mayanja yawa ebiragiro ku ttaka lino ekyavaako Mmengo okulangirira nti egenda kumuwawaabira olw’okwogereranga Obwakabaka amafuukuule