Paasita Bugingo asimattuse okuttibwa abazigu b'emmundu e Namungoona, basse omukuumi we

Jan 03, 2024

Poliisi ku Old Kampala ekyagenda mu maaso n'okubuuliriza ku ttemu erikoleddwa ku Paasita Aloysius Bugingo mwe baakubidde emmotoka ye amasasi agasse omukuumi we.

NewVision Reporter
@NewVision

Poliisi ku Old Kampala ekyagenda mu maaso n'okubuuliriza ku ttemu erikoleddwa ku Paasita Aloysius Bugingo mwe baakubidde emmotoka ye amasasi agasse omukuumi we.

Ettemu lino , lyabaddewo ku ssaawa ssatu ez'ekiro ekyakeesezza leero okumpi ne Bawalaakata e Namungoona zone 2 mu munisipaali y'e Rubaga mu Kampala, abazigu bwe baakubye amasasi agasse omukuumi we Richard Muhumuza.

Paasita Bugingo owa House of Prayer Ministry e Makerere Kikoni , oluvannyuma lw'ettemu lino, yasobodde okuvuga emmotoka ye eriko ennamba ya PRAIZ GOD n'atuuka e Mulago gy'akyafunira obujjanjabi .

Kigambibwa nti yafunye ebisago era  mu bukuumi obwamaanyi, ali mu kujjanjabibwa.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti yagenze okutuuka mu kifo we baabakubidde amasasi, nga kirinyiriddwa n'okukisaalimbiramu kyokka nga bali mu kweyambisa CCTV kamera okuzuula bonna abali emabega w'ekikolwa kino.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});