Eyakubye Bugingo n’omukumi we amasasi yasoose ku mudaala gwa chapatti ne bamuwa akatebe!

Jan 03, 2024

Engeri eyabadde ayagala okumumiza omukka omusu gye yaluseemu olukwe lw'okumuwandagaza amasasi ku Bawalakata

NewVision Reporter
@NewVision

EYABADDE ayagala okukuba Omusumba w’ekkanisa ya House of Prayer Ministries International, Aloysius Bugingo, yamulindiddde ku mudaala gwa Chapati we baasoose okumuwa akatebe n’atuula.

Abeebyokwerinda Bwe Baabadde Banoonya Amasasi Mu Kiro.

Abeebyokwerinda Bwe Baabadde Banoonya Amasasi Mu Kiro.

Bugingo mu kiro ekikeesezza leero asimattuse okukubibwa amasasi abantu abatannaba kutegeerekeka okukkakkana nga gakuttemu omukuumi we, Richard Muhumuza n’akutuka ng’atuusibwa mu ddwaaliro e Mulago.

Peter Twala Dpc Wa Old Kampala, Diso Wa Lubaga Mpawulo Ne Ssentebe W'omuluka Gw'e Kasubi Peter Tamale.

Peter Twala Dpc Wa Old Kampala, Diso Wa Lubaga Mpawulo Ne Ssentebe W'omuluka Gw'e Kasubi Peter Tamale.

Obulumbaganyi ku Musumba Bugingo bwabadde Namungoona mu munisipaali y’e Lubaga ku luguudo lwa Bawalakata, kinnya na mpindi n’ettaawo ly’e Namungoona era byabaddewo ku ssaawa nga 4:53 ez’ekiro bwe yabadde ava ku Salt TV okukola pulogulaamu ‘y’Emisingi’ ng’adda awaka e Namayumba gy’abeera.

Okusinziira ku baabaddewo, omutemu yajjidde ku bodaboda ng’ayambadde ekigirikooti ekiriko ekikoofiira ekya bbulaaka.

Ekifo Nga Kisaliddwaako.

Ekifo Nga Kisaliddwaako.

Bwe yatuuse mu kifo awaabadde ettemu, n’avaako n’akyama ku mudaala gwa chapatti oguliranyeewo n’abasaba akatebe n’atuula, wano we yeemuludde oluvannyuma n’adda mu kaziyivu we yasinzidde okukola obulumbaganyi era olwamaze n’adduka.

Oluvannyuma Bugingo yasimbudde emmotoka mu kugezaako okutaasa obulamu yogaayoga mu ddwaaliro e Mulago wadde ng’omukumi eyadde mu mutto gw’omusaabaze ogw’omu maaso amasasi gaamusse.

Omusirikale Ng'akebera Oba Mu Kataba Mulimu Essasi.

Omusirikale Ng'akebera Oba Mu Kataba Mulimu Essasi.

Ebitongole by’ebyokwerinda okuva ekiro bikyagenda mu maaso n’okukola okunoonyereza ku ttemu lino nga basinziira mu kifo awaabadde ettemu era waliwo n’abantu abakwatiddwa bayambeko poliisi mu kunoonyereza.

Ssentebe w’omuluka gw’e Kasubi, Peter Tamale ategeezezza nti yasaba dda ekifo kino kiddizibwemu kkamera kuba gye baali bataddewo yabaawo, kyokka ne gye buli kati kikyalemye okukolebwa.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});