Palamenti eyingidde mu by’okutta omukulu w’ekika ky’Endiga n'abanene bakyakugubaga
Feb 28, 2024
MU lutuula lwa Palamenti olwakubiriziddwa Sipiika Anita Among eggulo, yakungubagidde Eng. Bbosa, ababaka ne balaga okwennyamira olw’ettemu erisusse mu ggwanga.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Basasi baffe
MU lutuula lwa Palamenti olwakubiriziddwa Sipiika Anita Among eggulo, yakungubagidde Eng. Bbosa, ababaka ne balaga okwennyamira olw’ettemu erisusse mu ggwanga.
Sipiika yasabye ebitongole by’ebyokwerinda okunoonyereza ku ttemu n’okukakasa oba nga ddala kkamera enkessi ezaateekebwa ku nguudo zikola bulungi kubanga tuyinza okudda awo naye nga tuli mu kiguumaaza.
Ibrahim Ssemuju Nganda (Kira munisipaali) ne Allan Mayanja Ssebunnya (Nakaseke Central) baasabye minisita w’ebyokwerinda ajje annyonnyole ku bantu abazze battibwa n’emmundu okunonyereza we kutuuse, ate era annyonnyole ne ku bwebafu obuli mu poliisi, obwatuusizza abantu okugoba abazigu ne batuuka n’okuttako omu, nga Poliisi terabikako.
ABANENE BAKYAKUNGUBAGIRA LWOMWA
Mu maka ga Lwomwa e Lungujja, abanene bakyagenda mu maaso n’okukungubagira omugenzi, era eggulo Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yatuuseeko mu maka g’omugenzi n’akubagiza Nnamwandu Gladys Bbosa n’amusaba okwesiga Katonda asobole okumugumya emmeeme.
Mayiga yagambye nti ye tasobola kwesigama ku bigambibwa nti ekyassizza Bbosa byekuusa ku nkaayana za bukulembeze mu kika, n’asaba abantu okubeera abakkakkamu mu kiseera kino, poliisi emale okukola okunoonyereza.
Yasabye Gavumenti okujjanjaba omu ku baakubye Lwomwa amasasi n’obujjanjabi obw’amaanyi awone ate asobole okulonkoma abaamutuma okutta omukulu w’ekika.
Omusumba wa House of Prayer Ministries International Aloysius Bugingo eyakubwa amasasi ku ntandikwa y’omwaka guno, naye yatuuseeko mu maka g’omugenzi, n’akubagiza Nnamwandu.
Bugingo yasaasidde Gladys Bbosa olw’okuviibwako omwami abadde omukulembeze w’ekika, ate nga yeewaayo n’okuweereza Yesu era aba ffamire yabawadde ennyiriri za Bayibuli ze baba basoma okubagumya mu kiseera kino.
Ne Loodi mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago yayunguse n’akaaba amaziga nga yeefumiitiriza ku ngeri abatemu b’emmundu gye basobola okumalawo obulamu bw’omuntu ku busente obutono ennyo!
Wakati nga Lukwago akyasaasira Nnamwandu, ate yayongedde okukaaba, bwe yajjukidde engeri gye batta Joan Kagezi eyali omuwaabi wa gavumenti, ate bwe yalabye ku bazadde ba Kagezi okuli Ipolito Kaggwa Sserwadda ne Caroline Namayanja Sserwadda, ennyiike n’emweyongera.
Yatenderezza obuvumu aba bodaboda bwe baayolesezza okukwata abatemu wabula n’avumirira eky’okutwalira amateeka mu ngalo nti waakiri baalibakutte amateeka ne galamula
No Comment