Engeri omulimi w’emmwaanyi gy’ayita mu nkyukakyuka y’obudde n’asigaza omutindo

Apr 21, 2025

OKUFAANANAKO n’ebirime ebirala, enkyukakyuka y’embeera y’obudde kimu ku kusoomooza abalimi b’emmwaanyi kwe bayitamu.

NewVision Reporter
@NewVision

OKUFAANANAKO n’ebirime ebirala, enkyukakyuka y’embeera y’obudde kimu ku kusoomooza abalimi b’emmwaanyi kwe bayitamu.  Bangi ku balimi b’emmwaanyi
bbeeyi yaazo eri waggulu ebayiseeko olw’amakungula amatono  ekyava ku musana n’okukaddiwakw’ettaka ssaako endabirira embi. Dr. Emmanuel Zziwa, omukwanaganya
w’ensonga ezikwata ku nkyukakyuka y’embeera y’obudde  ku kitongole ky’ensi yonna
eky’ebyemmere n’obulimi ekya Food and Agriculture Organization  (FAO), yagambye nti, okusoomooza abalimi b’emmwaanyi kwe basinze  okusanga gwe musana.
 Yagambye nti, emmwaanyi bw’eyitibwako akasana nga zitaddeko ekimuli, omutindo
gw’amakungula gubeera gwa wansi.
Abalimi basaana waakiri okwegatta  ne bafuna ebyuma ebifukirira emmwaanyi naddala mu kiseera ky’okumulisa singa enkuba tetonnye mu budde.
 Ekirala, abalimi okugaana okusalira emmwaanyi oluvannyuma lw’okuteekako ekimuli nga balowooza nti, bagenda kufi irwa kyongedde okuttattana omutindo.
 Emmwaanyi zikaddiwa nga zeetaaga okusigula ne wasimbibwa  endala, okuganyulwa mu makungula.
Emmwaanyi ezikaddiye ze zisinga okutawaanyizibwa endwadde. Joseph Nkandu, akulira ekibiina ky’abalimi b’emmwaanyi mu ggwanga ekya National Union of Coffee Agribusiness and Farm Enterprises (NUCAE), agamba nti, omulimi alina okulaba ng’agoberera okuluηηamizibwa kw’abalimisa, mu kitundu ku nnima, endabirira
ssaako okukuuma omutindo gwazo.
 Emmwaanyi zeetaaga ebisiikirize okusobola okwaηηanga enkyukakyuka y’obudde naddala mu biseera akasana we kaakira kisukkiridde.
Bino bikolebwa mu nsimba ey’amabanga agaluηηamiziddwa abakugu mu by’obulimi, era n’ebika by’emiti bwebityo si buli muti nti, mulungi mu mmwaanyi.
EMMWAANYI GITWALE NGA KYA BUSUUBUZI
Emmanuel Lyamulemye abadde akulira ekitongole ekivunaanyizibwaku mutindo gw’emmwaanyi mu ggwanga ekya UCDA, ekyagattibwa ku minisitule y’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi yagambye nti, buli ali mu  kirime kino ku mutendera gwonna
alina okukitwala ku musingi gwa busuubuzi.
Akatale k’emmwaanyi za Uganda kakyali ka maanyi mu nsi yonna, wabula okusoomooza kuli eri abalimi okukuuma omutindo.
EBITTATTANA OMUTINDO GW’EMMWAANYI
Joseph Yawe, nga mulimi era musuubuzi  wa mmwaanyi mu Kampala,
alaga ebisinze okuttattana omutindo gw’emmwaanyi :
1 Okunoga emmwaanyi ento.
2 Okunoga ebirerya.
3 Obutafukirirwa mu biseera by’ekyeya ekisukkiridde ekivaako
ebirerya.
4 Entereka embi ekivaako okukukula.
5 Okuzaanika ku ttaka  ne zigendamu amayinja, obusa bw’ebisolo, kalimbwe
w’enkoko n’ebirala.
6 Okuzitunda nga tezinnakala nga zirimu amazzi agasukkiridde
ku galambikibwa.  Ebikolebwa okukuuma omutindo Joseph Nkandu, agamba nti :
 Okwettanira ebibiina by’obwegassi, Gavumenti n’ebibiina eby’obwannankyewa mwe biyita okusomesa ku mmwaanyi, okunoonyeza  n’abalimi okufuna akatale kalungi. Kyangu okufuna ebyuma ebifukirira nga muli wamu okusinga ssekinnoomu. Kyangu n’okuwolebwa ensimbi ez’okukozesa mu kugula eddagala, okufuuyira, okulima
n’ebirala okusinga ssekinnoomu.
 Okwettanira endokwa z’emmwaanyi ez’omulembe nga ziggyibwa mu bifo ebikakasibwa gavumenti okwewala ezo ezimerusibwa nga tezisobola kugumira mbeera ya budde

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});