Abavubuka ba NUP bavumiridde ekya poliisi okubagobya olukung'aana lwabwe
Apr 29, 2025
ABAKULIRA abavubuka mu kibiina kya NUP bavumiridde ekya poliisi okulinnya eggere mu lukung’aana lw’ekibiina kyabwe olw’abavubuka olubadde lutegekeddwa ku kitebe kyabwe e Kavule Makerere.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAKULIRA abavubuka mu kibiina kya NUP bavumiridde ekya poliisi okulinnya eggere mu lukung’aana lw’ekibiina kyabwe olw’abavubuka olubadde lutegekeddwa ku kitebe kyabwe e Kavule Makerere.
Abavubuka mu NUP leero babadde n’enteekateeka ey’okutongooza okumanyisa bavubuka ku nteekateeka ey’okulonda kw’abavubuka mu ggwanga okusubirwa okubeerayo okutandiika y’omwezi ogw’omukaaga n’okulonda abavubuka ku byalo.
Abamu Ku Bakulira Abavubuka Mu Nup Nga Bali Mu Lukungaana Lwa Mawulire.
Omubaka owa munisipaali y’e Mityana nga yakulira abavubuka mu kibiina kya NUP Francis Zaake akunze abavubuka okugenda kubyalo okukakasa nti amanya gabwe mwegali mu register y’abavubuka kubyalo okulaba nga ku mulundi guno babeera abakulembeze abatavumbeera.
Zaake era agamba nti baakutuukiririra akakiiko k’ebyokulonda okulaba ng’ensonga eno egonjoolwa.
Omubaka akiikirira abantu ba Kassanda South nga ye minisita owa bavubuka ku ludda oluvuganya gavumenti, Frank Kabuye agambye nti ekibiina balina obuvunaanyizibwa okukunga abavubuka okwetaba mu kulonda n’agamba ekikoleddwa polisi ekibadde kimenya mateeka.
No Comment