Abasuubuzi batabuse lwa katale k'e Gaba

Apr 29, 2025

EBY’AKATALE k’e Gaba byongedde okwonooneka oluvannyuma lw’abasuubuzi okukizuula nti akatale akapya akabadde kazimbibwa ate bakafudde ‘Washing Bay’ nga batandise n’okwolezaamu mmotoka.

NewVision Reporter
@NewVision

EBY’AKATALE k’e Gaba byongedde okwonooneka oluvannyuma lw’abasuubuzi okukizuula nti akatale akapya akabadde kazimbibwa ate bakafudde ‘Washing Bay’ nga batandise n’okwolezaamu mmotoka.

Okusinziira ku basuubuzi, okuva akatale lwe kaatandika okuzimbibwa, babadde beesunze okufuna emidaala batandike okukola bawone emivuyo n’ebyobufuzi ebitaggwa mu katale akakadde kyokka kirabika biwanvuye.

 

Bagamba nti kyabakanze nnyo okusanga kkufulu ennene ku miryango nga n’akapande akalaga nti katale, batandise okukakuulayo. Abasuubuzi baasitukiddemu ku Lwokusatu ne beekalakaasiza ku miryango gy’akatale nga bawakanya ebyabadde bikolebwa mu kifo kino.

Juliet Nassuuna, eyaliko kkansala w’omuluka gw’e Gaba agamba nti KCCA yagula ettaka lino mu 2011 ng’etegeezezza nti ka basuubuzi abaali baagobwa ku makubo mu biseera ebyo.

Ettaka libaddewo okumala ebbanga eriwera okutuusa enkaayana mu katale k’e Gaba bwe zisitudde enkundi, KCCA n’etandika okuzimbira abasuubuzi. 

Wabula ekyabeewuunyisizza kwe kulaba akatale akabadde kazimbibwa ate okusangamu ‘Washing Bay’. Amyuka ssentebe wa Gaba Trading, Jimmy Kamya agamba nti, KCCA ettaka yaligulira abantu era ng’akatale akabadde kazimbibwa kaabadde ka kumalawo nkaayana n’okufunira abantu we bakolera bawone emivuyo egiri mu katale akakadde.

Wabula okuva lwe baatandika okuzimba, enkaayana zaasituka ng’abantu ab’enjawulo beegwanyiza okukolera ku ttaka eryo ebyabwe, ekyavuddeko abavubuka abatategeerekeka okutandika okwolezaawo mmotoka.

Edward Ssebuufu, omu ku mukulembeze mu katale agamba emirimu ku katale akapya agamba nti emirimu gitambuziddwa kasoobo olw’abantu abaagala okwezza ettaka Gavumenti lye yaligulira abantu n’etandika n’okubazimbirako.

Mu 2024, minisita wa Kampala, Minsa Kabanda ng’ayita mu RCC eyaliko Mark Baingana yalagira emivuyo egyetobese mu katale k’e Gaba ginoonyerezebweko gigonjoolwe. Muno mwalimu n’okuddamu okulonda obukulembeze
bw’akatale obupya wabula kino tekyakolebwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});