Okukuza olunaku lw'ebyenjigiriza
Apr 25, 2025
Okwogera bino mukyala Museveni abadde mu lukungaana lw'abannamawulire olubadde mu maka g'obwa Pulezidenti e Nakasero .

NewVision Reporter
@NewVision
Okwogera bino mukyala Museveni abadde mu lukungaana lw'abannamawulire olubadde mu maka g'obwa Pulezidenti e Nakasero .
Olukungaana luno lugendereddwamu kwanja nteekateeka za bijaguzo bya lunaku lwa byanjigiriza mu ggwanga
Olunaku lw'ebyenjigiriza mu nsi yonna lukuzibwa buli 24 January wabula nga eggwanga Uganda ebijaguzo bitegekeddwa 29 April ku kisaawe e Kololo .
Ku mukolo , mukyala Museveni akakasiza nga bwekugenda okubeerako omwoleso gw'ebiyiiye n'obuvumbuzi , okubaganya ebirowoozo ku butya amasomo g'ekikugu bwegasobola okwongerwamu amaanyi , omutindo n'omugaso era nabuli muntu ayaniriziddwa .
Abakungu be byenjigiriza
Mukyala Museveni agamba okusinziira ku mulamwa gw'omwaka guno , okubangula abavubuka okuyita mu amasomo ag'ekikugu kijja kuyamba eggwanga okugenda mu maaso wamu n'okulwanisa ebbula ly'emirimu
Agamba nti nga gavumenti, wabaddewo ebintu bingi byesizaamu amaanyi okutumbula amasomo gano omuli okuzimba amatendekero , okutereeza amateeka wamu n'okubangula abasomesa b'amasomo gano.
Asabye buli gw'ekikwatako naddala abazadde okola ekisoboka okulaba nga abaana bagawa enkizo era ne bagettanira so si galaba nga gawansi .
Nga abaana bakomawo mu luwummula olw'olusoma olusooka , mukyala Museveni asabye abazadde okweyambisa oluwummula okulungamya abaana baabwe mu neeyisa ennungamu nga bayibuli bwesomesa
No Comment